Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okwagala Kwe Kwawulawo Abakristaayo ab’Amazima—Sanyukira Wamu n’Amazima

Okwagala Kwe Kwawulawo Abakristaayo ab’Amazima—Sanyukira Wamu n’Amazima

LWAKI KIKULU: Tusaanidde okukoppa Yesu nga tuwa obujulirwa ku bigendererwa bya Katonda. (Yok 18:37) Ate era tusaanidde okusanyukira wamu n’amazima, okwogera amazima, n’okulowoozanga ku bintu byonna ebituufu, wadde nga tuli mu nsi ejjudde obulimba n’obutali butuukirivu.​—1Ko 13:6; Baf 4:8.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Beera mumalirivu obutawuliriza ŋŋambo oba obutazisaasaanya.​—1Se 4:11

  • Tosanyuka ng’omulala afunye ebizibu

  • Sanyukira ebirungi n’ebizzaamu amaanyi

MULABE VIDIYO “MWAGALANENGA”​—TOSANYUKIRA BITALI BYA BUTUUKIRIVU, WABULA SANYUKIRA WAMU N’AMAZIMA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Mu ngeri ki Debbie gye ‘yasanyukira ebitali bya butuukirivu’?

  • Alice yakyusa atya emboozi ne batandika okunyumya ku kintu ekirungi?

  • Ebimu ku bintu ebirungi bye tusobola okunyumyako bye biruwa?

Tosanyukira bitali bya butuukirivu, wabula sanyukira wamu n’amazima