Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okitobba 8-14

YOKAANA 11-12

Okitobba 8-14
  • Oluyimba 16 n’Okusaba

  • Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

  • Beera Musaasizi nga Yesu”: (Ddak. 10)

    • Yok 11:23-26​—Yesu yayogera ebigambo ebyazzaamu Maliza amaanyi (“Mmanyi nti alizuukira” awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 11:24, nwtsty; “Nze kuzuukira n’obulamu” awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 11:25, nwtsty)

    • Yok 11:33-35​—Yesu yanyolwa nnyo bwe yalaba nga Maliyamu n’abalala bakaaba (“ng’akaaba,” “n’asinda . . . era n’anyolwa nnyo,” “mu nda ye” awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 11:33, nwtsty; “n’akulukusa amaziga” awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 11:35, nwtsty)

    • Yok 11:43, 44​—Yesu yabaako ky’akolawo okuyamba abaali mu bwetaavu

  • Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)

    • Yok 11:49​—Ani yalonda Kayaafa ku bwakabona asinga obukulu, era ekifo ekyo yakimalamu bbanga ki? (“kabona asinga obukulu” awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 11:49, nwtsty)

    • Yok 12:42​—Lwaki Abayudaaya abamu baatyanga okugamba nti Yesu ye Kristo? (“bafuzi,” “okugobebwa mu kkuŋŋaaniro” awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 12:42, nwtsty)

    • Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?

    • Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

  • Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Yok 12:35-50

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

  • Omulundi Ogusooka: (Ddak. 2 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako.

  • Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana Okusooka: (Ddak. 5) Mulabe vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.

  • Okwogera: (Ddak. 6 oba obutawera) w13 9/15 lup. 32​—Omutwe: Lwaki Yesu Yakaaba Bwe Yali Tannazuukiza Laazaalo?

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

  • Oluyimba 141

  • Yesu Kwe “Kuzuukira n’Obulamu” (Yok 11:25): (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe ekitundu ekyaggibwa mu vidiyo ‘Katonda Yamufuula Mukama Waffe era Kristo’​Ekitundu II. Oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino: Ebiri mu vidiyo eyo biraga bitya nti Yesu musaasizi? Mu ngeri ki Yesu gy’ali ‘okuzuukira n’obulamu’? Byamagero ki Yesu by’ajja okukola mu biseera eby’omu maaso?

  • Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 38

  • Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)

  • Oluyimba 147 n’Okusaba