Okitobba 12-18
OKUVA 33-34
Oluyimba 115 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Engeri za Yakuwa Ezisikiriza”: (Ddak. 10)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Kuv 33:11, 20—Mu ngeri ki Katonda gye yayogera ne Musa “maaso ku maaso”? (w04 4/1 lup. 11 ¶5)
Kuv 34:23, 24—Lwaki abasajja Abayisirayiri kyali kibeetaagisa okuba n’okukkiriza okusobola okubangawo ku mbaga essatu ezaabangawo buli mwaka? (w98-E 9/1 lup. 20 ¶5)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Kuv 33:1-16 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Brenda annyonnyodde atya obulungi ekyawandiikibwa? Ayambye atya oyo gw’abadde abuulira okulowooza?
Okuddiŋŋana: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa ensonga gye batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 16)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 5 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe akatabo Bye Tuyiga, era otandike okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa essuula 2. (th essomo 8)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Abavubuka—Yakuwa Mumutwala nga Mukwano Gwammwe Asingayo?”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Abavubuka—“Mulegeeko Mulabe nti Yakuwa Mulungi.”
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30 oba obutawera) jy sul. 136
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 103 n’Okusaba