Okitobba 19-25
OKUVA 35-36
Oluyimba 92 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yakuwa Yabasobozesa Okukola Omulimu Gwe”: (Ddak. 10)
Kuv 35:25, 26—Yakuwa yawa abantu be omukisa olw’okwewaayo kyeyagalire okukola omulimu gwe (w14 12/15 lup. 4 ¶4)
Kuv 35:30-35—Omwoyo omutukuvu gwasobozesa Bezaleeri ne Okoliyaabu okukola emirimu “egya buli ngeri” (w11 12/15 lup. 19 ¶6)
Kuv 36:1, 2—Ekitiibwa n’ettendo byadda eri Yakuwa olw’emirimu gye baakola (w11 12/15 lup. 19 ¶7)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Kuv 35:1-3—Kiki kye tuyigira ku tteeka erikwata ku Ssabbiiti? (w05 6/1 lup. 11 ¶14)
Kuv 35:21—Tuyinza tutya okwoleka omwoyo omugabi ng’Abayisirayiri bwe baakola? (w00-E 11/1 lup. 29 ¶1)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Kuv 35:1-24 (th essomo 11)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye tuyinza Okwogerako. (th essomo 11)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Oluvannyuma, mubuulire ebikwata ku mukutu jw.org, era omuwe kaadi eragirira abantu ku mukutu ogwo. (th essomo 4)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5 oba obutawera) bhs lup. 26 ¶18-20 (th essomo 19)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Lipoota y’Akakiiko Akalabirira Omulimu gw’Okukuba Ebitabo Eya 2018: (Ddak. 15) Mulabe vidiyo, oluvannyuma obuuze abawuliriza ebibuuzo bino: Nkyukakyuka ki ezaakolebwa ku bikwata ku kukuba ebitabo byaffe, era lwaki? Birungi ki ebivuddemu? Omulimu gw’okuvvuunula gutuyamba gutya okusobola okufuna emmere ey’eby’omwoyo? Birungi ki ebivudde mu kufulumya vidiyo n’ebitabo eby’okusomera ku kompyuta oba ku ssimu?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30 oba obutawera) jy sul. 137
Okufundikira (Ddak. 3 oba obutawera)
Oluyimba 69 n’Okusaba