Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUVA 37-38

Engeri Ebyoto Gye Byakozesebwangamu mu Kusinza okw’Amazima

Engeri Ebyoto Gye Byakozesebwangamu mu Kusinza okw’Amazima

37:25, 29; 38:1

Ebyoto ebyakozesebwanga ku weema entukuvu byakolebwa nga bagoberera obulagirizi bwa Yakuwa, era byali bikulu nnyo mu kusinza okw’amazima.

  • Okufaananako okwotereza obubaani obwali butabuddwa mu ngeri ey’ekikugu, Yakuwa awuliriza okusaba kw’abaweereza be okuteeketeeke obulungi

  • Yakuwa yakkirizanga ssaddaaka ezaaweebwangayo ku kyoto ky’ebiweebwayo ebyokebwa. Eky’okuba nti ekyoto ekyo kyali mu maaso ga weema entukuvu, kitujjukiza nti okusobola okusiimibwa Yakuwa, tulina okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu Kristo.​—Yok 3:16-18; Beb 10:5-10

Tuyinza tutya okuteekateeka essaala zaffe ne ziba ng’obubaani obuteekeddwateekeddwa mu maaso ga Katonda?​—Zb 141:2