OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kaweefube ow’Enjawulo ow’Okulangirira Obwakabaka bwa Katonda mu Noovemba
Yesu yabuulira “amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.” (Luk 4:43) Ate era yayigiriza abantu okusaba nti Obwakabaka obwo bujje. (Mat 6:9, 10) Mu Noovemba, tujja kwenyigira mu kaweefube ow’enjawulo ow’okulangirira Obwakabaka bwa Katonda. (Mat 24:14) Kola enteekateeka osobole okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube oyo. Abo abanaaweereza nga bapayoniya abawagizi mu mwezi ogwo, basobola okuwaayo essaawa 30 oba 50.
Somera abantu bangi nga bwe kisoboka waakiri ekyawandiikibwa kimu ekikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Bw’oba olonda ekyawandiikibwa eky’okusoma, lowooza ku nzikiriza z’abo b’obuulira. Omuntu bw’alaga okusiima ku mulundi ogusooka, muwe magazini y’Omunaala gw’Omukuumi Na. 2 2020. Fuba okumuddira amangu ddala nga bwe kisoboka, era ogezeeko okutandika okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. Wasigaddeyo ekiseera kitono nnyo Obwakabaka bwa Katonda buzikirize obufuzi bw’abantu bwonna. (Dan 2:44; 1Ko 15:24, 25) N’olwekyo, ka tukozese akakisa kano okulaga nti twagala Yakuwa era nti tuwagira Obwakabaka bwe!