OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Enkolagana Yo ne Yakuwa Gitwale nga ya Muwendo
Abajulirwa ba Yakuwa tulina enkizo ey’enjawulo. Olw’okuba tuli Bakristaayo abeewaayo eri Yakuwa, tulina enkolagana ennungi ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, era enkolagana eyo tusobola okweyongera okuginyweza. Yatusembeza gy’ali ng’ayitira mu Mwana we. (Yok 6:44) Ate era, awuliriza okusaba kwaffe.—Zb 34:15.
Tuyinza tutya okukuuma enkolagana gye tulina ne Katonda? Engeri emu gye tuyinza okukikolamu, kwe kwewala okukola ensobi Abayisirayiri gye baakola. Nga waakayita ekiseera kitono oluvannyuma lwa Yakuwa okukola endagaano nabo, baakola ennyana eya zzaabu ne batandika okugisinza. (Kuv 32:7, 8; 1Ko 10:7, 11, 14) Tuyinza okwebuuza nti: ‘Nneeyisa ntya nga njolekaganye n’ekikemo? Engeri gye nneeyisaamu eraga nti enkolagana yange ne Yakuwa ngitwala nga ya muwendo?’ Okwagala okw’amaanyi kwe tulina eri Kitaffe ow’omu ggulu kujja kutuyamba okwewala okukola ebintu by’akyawa.—Zb 97:10.
MULABE VIDIYO, KUUMA ENKOLAGANA YO NE YAKUWA (BAK 3:5), OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Ekigambo “okwegomba” kirina makulu ki?
-
Lwaki tusaanidde okwewala omululu n’okusinza ebifaananyi?
-
Kakwate ki akaliwo wakati w’obwenzi n’okusinza ebifaananyi?
-
Lwaki abo abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina basaanidde okufaayo ennyo ku byetaago bya bannaabwe mu bufumbo?