Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okukubiriza Abantu Okujja mu Nkuŋŋaana

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okukubiriza Abantu Okujja mu Nkuŋŋaana

LWAKI KIKULU: Enkuŋŋaana zitusobozesa ‘okuyimbira Yakuwa n’okumutendereza.’ (Zb 149:1) Bwe tuba mu nkuŋŋaana, tuyigirizibwa okukola Katonda by’ayagala. (Zb 143:10) Abantu abasiima obubaka bwaffe n’abayizi ba Bayibuli bakulaakulana mangu mu by’omwoyo bwe batandika okujja mu nkuŋŋaana.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Bw’oba waakabuulira omuntu mukubirize okujja mu nkuŋŋaana. Tolinda okutuusa ng’afuuse omuyizi wa Bayibuli.Kub 22:17

  • Munnyonnyole enkuŋŋaana bwe zibeera era n’ebinaayigirizibwa mu lukuŋŋaana olunaddako. Oyinza okukozesa ebintu bino: akapapula akayita abantu mu nkuŋŋaana, vidiyo Biki Ebikolebwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka?, n’essomo 5 ne 7 mu brocuwa Abakola Yakuwa by’Ayagala

  • By’oyinza okukola okumuyamba: Yandiba nga yeetaaga okuyambibwako mu by’entambula oba okumuyambako okulonda oluyoge olusaana? Bw’ajja mu nkuŋŋaana, tuula naye mukozese mmwembi ebitabo byo. Mwanjule eri abalala