Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Bwe Tugenda mu Maka Omwana n’Atwaniriza

Bwe Tugenda mu Maka Omwana n’Atwaniriza

Bwe tugenda mu maka omwana n’atwaniriza, tusaanide okumugamba nti twagala kwogera ne bazadde be. Kino kiraga nti tussa ekitiibwa mu nteekateeka y’obukulembeze mu maka. (Nge 6:20) Omwana bw’atugamba nti tuyingire mu nnyumba, tetuyingira. Bazadde be bwe baba tebaliiwo, tumugambe nti tujja kudda olulala.

Omwana ne bw’aba nga mukulu, oboolyawo nga ali wakati w’emwaka nga 15 ne 19, kyandibadde kya magezi okumugamba nti twagala kwogera ne bazadde be. Bwe baba tebaliiwo, tuyinza okumubuuza oba bazadde be bamukkiriza okwesalirawo by’alina okusoma. Bwe baba bamukkiriza, tusobola okumuwa eky’okusoma era oboolyawo ne tumulagirira omukutu gwaffe ogwa jw.org.

Bwe tuba tuzzeeyo okukyalira omuvubuka eyasiima obubaka bwaffe, tusaanidde okumubuuza obanga kisoboka okwogera ne bazadde be. Kino kijja kutuyamba okubannyonnyola ensonga etuleese era n’okubalaga amagezi agasangibwa mu Bayibuli agasobola okuyamba amaka. (Zb 119:86, 138) Bwe tulaga nti tuwa abazadde ekitiibwa, kiwa obujulirwa era kiyinza okutusobozesa okwogera n’abo mu maka ago ku bikwata ku Bayibuli omulundi omulala.1Pe 2:12.