Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 119

‘Tambulira mu Mateeka ga Yakuwa’

‘Tambulira mu Mateeka ga Yakuwa’

Okutambulira mu mateeka ga Yakuwa kitegeeza okugoberera obulagirizi bwe awatali kuwalirizibwa. Mu Bayibuli mulimu ebyokulabirako bingi eby’abantu abaatambulira mu mateeka ga Yakuwa era ne bamwesiga ng’omuwandiisi wa zabbuli 119 bwe yakola.

Bwe tutambulira mu mateeka ga Katonda tufuna essanyu erya nnamaddala

119:1-8

Yoswa yakiraga nti yali yeesiga obulagirizi bwa Yakuwa. Yali akimanyi nti okusobola okuba omusanyufu n’okutuuka ku buwanguzi, yalina okwesiga Yakuwa n’omutima gwe gwonna

Ekigambo kya Katonda kituyamba okugumira ebizibu

119:33-40

Yeremiya yayoleka obuvumu era yeesiga Yakuwa mu mbeera enzibu. Yeewala okuba n’ebintu ebingi ne kimuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa

Okutegeera obulungi Ekigambo kya Katonda kituwa obuvumu okubuulira

119:41-48

Pawulo yali tatya kubuulira muntu yenna Kigambo kya Katonda. Yagenda okubuulira Gavana Ferikisi nga mukakafu nti Yakuwa ajja kumuyamba

Wa we kiyinza okunneetaagisa okwongera okwoleka obuvumu nga mbuulira?

  • Ku ssomero

  • Ku mulimu

  • Ab’eŋŋanda

  • Embeera endala