Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

By’Osaanidde Okwewala ng’Oyigiriza Omuntu Bayibuli

By’Osaanidde Okwewala ng’Oyigiriza Omuntu Bayibuli

Okwogera Ennyo: Tosaanidde kulowooza nti olina okunnyonnyola buli kimu. Yesu yakozesanga ebibuuzo okuyamba abantu okulowooza n’okutegeera ekituufu. (Mat 17:24-27) Okukozesa ebibuuzo kiyamba omuyizi okuwa endowooza ye era naawe kikuyamba okumanya obanga by’ayiga abitegeera era abikkiriza. (be 253 ¶3-4) Bw’obuuza ekibuuzo, mugumiikirize akuddemu. Omuyizi bw’addamu ekikyamu, tomubuulira kifuutu, wabula kozesa ebibuuzo ebirala ebinaamuyamba okufuna eky’okuddamu ekituufu. (be 238 ¶1-2) Yogera mpolampola omuyizi asobole okutegeera ebintu ebipya by’omuyigiriza.be 230 ¶4.

Okukalubya Ebintu: Weewale okumubuulira buli kimu ky’omanyi ku nsonga gye mwogerako. (Yok 16:12) Essira lisse ku nsonga enkulu eri mu katundu. (be 226-227 ¶4-5) Ebintu ebitakwatagana na nsonga gye muliko, ne bwe biba nga binyuma, biyinza okubuutikira ensonga enkulu. (be 235 ¶3) Omuyizi bw’aba ng’ategedde ensonga enkulu, mugende ku katundu akaddako.

Okusoma Obusomi Obutundu: Ekigendererwa kyaffe si kumalako bumazi katabo, wabula kutuuka ku mutima gw’omuyizi. (Luk 24:32) Kozesa Ekigambo kya Katonda kubanga kya maanyi, era essira lisse ku byawandiikibwa ebiggyayo ensonga enkulu. (2Ko 10:4; Beb 4:12; be 144 ¶1-3) Kozesa ebyokulabirako ebyangu okutegeera. (be 245 ¶2-4) Lowooza ku bizibu omuyizi by’ayolekagana nabyo awamu n’enzikiriza ze, era by’omuyigiriza obituukaganye n’embeera ye. Mubuuze ebibuuzo nga bino: “Olowooza ki ku bino by’oyize?” “Kino kikuyigiriza ki ku Yakuwa?” “Onooganyulwa otya bw’onookissa mu nkola?”be 238 ¶3-5; 259 ¶1.