Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZABBULI 135-141

Twakolebwa mu Ngeri ey’Ekitalo

Twakolebwa mu Ngeri ey’Ekitalo

Dawudi yafumiitiriza ku ngeri za Katonda ezeeyolekera mu bitonde. Yaweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna.

Okufumiitiriza ku bitonde kyaleetera Dawudi okutendereza Yakuwa:

139:14

  • “Nkutendereza kubanga nnakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa era ey’ekitalo”

139:15

  • “Amagumba gange tegaakukisibwa bwe nnali nkolebwa mu kyama, bwe nnali nkulira mu lubuto lwa mmange”

139:16

  • “Amaaso go gandaba nga ndi mu lubuto lwa mmange; ebitundu by’omubiri gwange byonna byawandiikibwa mu kitabo kyo”