OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Ssebutemba 2018
Bye Tuyinza Okwogerako
Bye tuyinza okwogerako ebikwata ku ngeri Katonda gy’afaayo ku bantu.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yesu Akola Ekyamagero Ekisooka
Ekyamagero Yesu kye yasooka okukola kituyamba okutegeera engeri ze.
EKIBAMGO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yesu Abuulira Omukazi Omusamaliya
Okusobola okubuulira embagirawo, Yesu yatandika n’ekyokulabirako ekikwata ku bintu ebya bulijjo omukazi bye yakolanga.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutandika Okunyumya n’Omuntu ng’Olina Ekigendererwa eky’Okumubuulira
Kiki ekinaatuyamba okutandika okunyumya n’abantu be tutamanyi?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Goberera Yesu ng’Olina Ekigendererwa Ekirungi
Abayigirizwa ba Yesu abamu beesittala ne balekera awo okumugoberera olw’okuba baalina ebiruubirirwa ebikyamu.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Tewali Kyayonoonebwa
Okufaananako Yesu, tusobola okulaga nti tusiima ebintu Yakuwa by’atuwa nga twewala okubyonoona.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yesu Yagulumiza Kitaawe
Ekiruubirirwa kya Yesu kyali kya kumaliriza mulimu Yakuwa gwe yamuwa.
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Beera Mwetoowaze nga Kristo
Tuyinza tutya okukoppa Yesu nga tufunye enkizo oba nga tuweereddwa obuvunaanyizibwa mu kibiina?