OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutandika Okunyumya n’Omuntu ng’Olina Ekigendererwa eky’Okumubuulira
Yesu yasobola okubuulira omukazi Omusamaliya olw’okuba Yesu ye yatandika emboozi naye. Biki ebinaatuyamba okutandika okunyumya n’abantu be tutamanyi?
-
Beera wa kisa era fuba okunyumya n’abantu. Wadde Yesu yali akooye, yayogera n’omukazi Omusamaliya n’amusaba amazzi. Oyinza okusookera ku kubuuza omuntu mu ngeri ey’ebbugumu. Oluvannyuma oyinza okwogera ku mbeera y’obudde, oba ekintu kyonna ekyakagwawo mu kitundu. Olw’okuba ekigendererwa kyo kwe kutandika okunyumya naye, kikulu okwogera ku kintu ekiyinza okumusikiriza. Bw’atakuddamu, toggwaamu maanyi. Gezaako okwogera n’omulala. Saba Yakuwa akuwe obuvumu.—Nek 2:4; Bik 4:29.
-
Kozesa akakisa konna k’oba ofunye okubuulira. Toyanguyiriza kumubuulira bikwata ku Bayibuli, wabula sooka oyogere ku bintu ebya bulijjo. Tomussa ku bunkenke kubanga ayinza okulekera awo okwogera naawe. Singa emboozi ekomekkereza nga tomubuulidde bikwata ku Bayibuli, toggwaamu maanyi. Bw’oba okaluubirirwa okubuulira embagirawo, weemanyiize okutandika okwogera n’abantu nga tolina kiruubirirwa kya kubabuulira. [Mulabe vidiyo esooka, era mugikubaganyeeko ebirowoozo.]
-
Oyinza okwogera ku kintu ekikwata ku nzikiriza yo ekiyinza okuleetera omuntu okubuuza ekibuuzo ng’ayagala omunnyonnyole. Yesu yayogera ku bintu ebyaleetera omukazi okumubuuza ebibuuzo. Yesu bwe yatandika okumubuulira, yali addamu buzzi bibuuzo omukazi bye yali amubuuzizza. [Mulabe vidiyo ey’okubiri era mugikubanyeeko ebirowoozo. Oluvannyuma mulabe vidiyo ey’okusatu, nayo mugikubaganyeeko ebirowoozo.]