Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Tewali Kyayonoonebwa

Tewali Kyayonoonebwa

Yesu bwe yakola ekyamagero n’aliisa abasajja 5,000 awamu n’abakazi n’abaana, yagamba abayigirizwa be nti: “Mukuŋŋaanye obutundutundu obufisseewo, waleme kubaawo kyonoonebwa.” (Yok 6:12) Yesu yalaga nti asiima Yakuwa by’atuwa nga yeewala okubyonoona.

Mu kiseera kino, ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi bafuba okukoppa Yesu nga bakozesa bulungi ebintu ebiweebwayo okukola omulimu gwa Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, bwe baali bazimba ekitebe kyaffe ekikulu mu Warwick, New York, ab’oluganda baagoberera pulaani eyabasobozesa okukozesa obulungi ssente eziweebwayo.

TUYINZA TUTYA OKWEWALA OKUKOZESA OBUBI EBITUWEEBWA . . .