Ssebutemba 24-30
YOKAANA 7-8
Oluyimba 12 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 3 oba obutawera)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yesu Yagulumiza Kitaawe”: (Ddak. 10)
Yok 7:15-18—Yesu bwe baamutenderezanga olw’engeri gye yali ayigirizaamu, ekitiibwa n’ettendo yabizzanga eri Yakuwa (cf-E lup. 100-101 ¶5-6)
Yok 7:28, 29—Yesu yagamba nti Katonda ye yamutuma, era ekyo kyalaga nti amugondera
Yok 8:29—Yagamba abaamuwulirizanga nti bulijjo akola ebisanyusa Yakuwa (w11 3/15 lup. 11 ¶19)
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 8)
Yok 7:8-10—Ebiri mu nnyiriri zino biraga nti Yesu yalimba baganda be ab’omubiri? (w07 2/1 lup. 5 ¶4)
Yok 8:58—Lwaki ebigambo ebisembayo mu lunyiriri luno bivvuunulwa nti “nze nnaliwo,” era lwaki ekyo kikulu? (“nze nnaliwo” awannyonnyolerwa ebiri mu Yok 8:58, nwtsty)
Okusoma Bayibuli okwa wiiki eno kwakuyigirizza ki ku Yakuwa?
Biki ebirala bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4 oba obutawera) Yok 8:31-47
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Okuddiŋŋana okw’Okubiri: (Ddak. 3 oba obutawera) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako, oluvannyuma omuyite ajje mu nkuŋŋaana.
Okuddiŋŋana okw’Okusatu: (Ddak. 3 oba obutawera) Kozesa ekyawandiikibwa kye weerondedde, oluvannyuma omuwe akamu ku butabo bwe tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli.
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 6 oba obutawera) lv lup. 9-10 ¶10-11
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Beera Mwetoowaze nga Kristo”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe buli vidiyo era mugikubaganyeeko ebirowoozo.
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) jy sul. 36
Okufundikira n’Okubategeeza Ebya Wiiki Ejja (Ddak. 3)
Oluyimba 119 n’Okusaba