OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Beera Mwetoowaze nga Kristo
Wadde nga Yesu y’asinga abantu bonna abaali babaddewo ku nsi, yali mwetoowaze era yagulumiza Yakuwa. (Yok 7:16-18) Ku luuyi olulala, malayika omubi amanyiddwa nga Sitaani yafuuka Omulyolyomi, ekitegeeza “Omuwaayiriza.” (Yok 8:44) Abafalisaayo baayoleka endowooza ya Sitaani, olw’okuba amalala gaabaleetera okunyooma buli muntu eyakkiririzanga mu Masiya. (Yok 7:45-49) Tuyinza tutya okukoppa Yesu bwe tufuna enkizo oba obuvunaanyizibwa mu kibiina?
MULABE VIDIYO, ‘MWAGALANENGA’—WEEWALE OBUGGYA N’OKWEWAANA, EKITUNDU EKISOOKA, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU KIBUUZO KINO:
-
Alex yayoleka atya amalala?
MULABE VIDIYO, ‘MWAGALANENGA’—WEEWALE OBUGGYA N’OKWEWAANA, EKITUNDU EKY’OKUBIRI, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
-
Alex yayoleka atya obwetoowaze?
Alex yazzaamu atya Ben ne Carl amaanyi?
MULABE VIDIYO, ‘MWAGALANENGA’—WEEWALE AMALALA N’ENNEEYISA ETASAANA, EKITUNDU EKISOOKA, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU KIBUUZO KINO:
-
Ow’oluganda Harris yakiraga atya nti si mwetoowaze?
MULABE VIDIYO, ‘MWAGALANENGA’—WEEWALE AMALALA N’ENNEEYISA ETASAANA, EKITUNDU EKY’OKUBIRI, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
-
Ow’oluganda Harris yalaga atya obwetoowaze?
Kiki Fiina kye yayigira ku w’Oluganda Harris?