EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Goberera Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
Kalebu yagoberera Yakuwa n’omutima gwe gwonna okuviira ddala mu buvubuka bwe (Yos 14:7, 8)
Oluvannyuma ng’akaddiye, yeesiga Yakuwa nti yali ajja kumusobozesa okukola ekintu ekitaali kyangu (Yos 14:10-12; w05 4/1 lup. 32 ¶3)
Kalebu yafuna emikisa olw’okuweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna (Yos 14:13, 14; w06 10/1 lup. 17 ¶11)
Kalebu bwe yakoleranga ku bulagirizi bwa Yakuwa era n’alaba emikisa egivaamu, okukkiriza kwe kweyongera okunywera. Naffe bwe tulaba engeri Yakuwa gy’addamu okusaba kwaffe n’engeri gy’atuwaamu obulagirizi, kituyamba okweyongera okumuweereza n’obwesigwa.—1Yo 5:14, 15.