OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kuumira Yakuwa mu Birowoozo Byo Buli Kiseera
Emirimu bwe giba nga mizibu okufuna, kiyinza okutuzibuwalira okukulembeza Obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe. Tuyinza okwesanga nga tukkirizza omulimu ogutatusobozesa kuweereza Yakuwa mu bujjuvu oba ogukontana n’emisingi gya Bayibuli. Naye tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ‘alaga amaanyi ge ku lw’abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.’ (2By 16:9) Tewali kisobola kulemesa Kitaffe atwagala okutuyamba n’okutuwa bye twetaaga. (Bar 8:32) N’olwekyo, bwe tuba nga tusalawo mulimu ki gwe tunaakola, tusaanidde okwesiga Yakuwa n’okukulembeza obuweereza bwaffe gy’ali.—Zb 16:8.
MULABE VIDIYO, WEEREZA YAKUWA N’OMUTIMA GWO GWONNA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Lwaki Jason yagaana enguzi?
-
Ebyo ebiri mu Abakkolosaayi 3:23 bitukwatako bitya?
-
Ekyokulabirako kya Jason ekirungi kyakwata kitya ku Thomas?
-
Ebyo ebiri mu Matayo 6:22 bitukwatako bitya?