Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Buulira Abantu Amawulire Amalungi nti Ensi Empya Enaatera Okujja!

Buulira Abantu Amawulire Amalungi nti Ensi Empya Enaatera Okujja!

Mu mwezi gwa Noovemba tugenda kuba ne kaweefube ow’okubuulira abantu amawulire amalungi nti ensi empya enaatera okujja. (Zb 37:10, 11; Kub 21:3-5) Kola enteekateeka osobole okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube oyo. Abo abanaaweereza nga bapayoniya abawagizi omwezi ogwo, basobola okuwaayo essaawa 30 oba 50.

Weetegeke okusomera abantu bangi nga bwe kisoboka waakiri ekyawandiikibwa kimu ekyogera ku nsi empya. Bw’oba olonda ekyawandiikibwa eky’okusoma, lowooza ku ekyo ekinaasinga okukwata ku bantu ab’omu kitundu kyammwe. Omuntu gw’onooba obuulidde bw’anaalaga nti ayagala okumanya ebisingawo, muwe Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna Na. 2 2021. Fuba okuddira omuntu oyo amangu ddala nga bwe kisoboka era ogezeeko okutandika okumuyigiriza Bayibuli ng’okozesa brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna. Nga kijja kuba kya ssanyu okwenyigira mu kubuulira “amawulire amalungi ag’ekintu ekisingako obulungi”!​—Is 52:7.

MULABE VIDIYO Y’OLUYIMBA, MU NSI EMPYA EJJA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Biki akawala ke tulabye mu vidiyo eyo bye kafumiitirizaako?

  • Biki by’osinga okwesunga mu nsi empya?

  • Okufumiitiriza ku bintu ebirungi ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, kinaakuyamba kitya okwenyigira mu bujjuvu mu kaweefube anaabaawo mu Noovemba?​—Luk 6:45