Okitobba 4-10
YOSWA 8-9
Oluyimba 127 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Bye Tuyigira ku Ebyo Bye Tusoma ku Bagibiyoni”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Yos 8:29—Lwaki kabaka w’e Ayi yawanikibwa ku muti? (it-1-E lup. 1030)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Yos 8:28–9:2 (th essomo 5)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Kozesa ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa emu ku nsonga abantu ze batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 2)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Muwe akapapula akayita abantu mu nkuŋŋaana era beera ng’amulaga vidiyo, Biki Ebikolebwa mu Kingdom Hall? (th essomo 11)
Okwogera: (Ddak. 5) it-1-E lup 520; lup. 525 ¶1—Omutwe: Biki Bye Tuyigira ku Ndagaano Yoswa Gye Yakola n’Abagibiyoni? (th essomo 13)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kirage nti Oli Muwombeefu (1Pe 5:5): (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo. Oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino: Peetero ne Yokaana baagoberera baatya obulagirizi Yesu bwe yabawa obukwata ku kuteekateeka Okuyitako? Kintu ki ekikwata ku bwetoowaze Yesu kye yayigiriza mu kiro ekyasembayo amale attibwe? Tumanya tutya nti Peetero ne Yokaana baayigira ku ekyo Yesu kye yakola? Tuyinza tutya okukiraga nti tuli beetoowaze?
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) rr sul. 14 ¶15-20
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 59 n’Okusaba