OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Weeyongere Okutendeka Obusobozi Bwo obw’Okutegeera
Omuddusi alina okweyongera okwetendeka okusobola okudduka obulungi. Mu ngeri y’emu, naffe tulina okweyongera okutendeka obusobozi bwaffe obw’okutegeera. (Beb 5:14) Wadde nga tuyinza okwagala okusalawo ng’abalala bwe baba basazeewo, tulina okutendeka obusobozi bwaffe obw’okulowooza ne twesalirawo ku lwaffe. Lwaki? Kubanga buli omu ajja kuvunaanyizibwa ku lulwe olw’ebyo by’aba asazeewo.—Bar 14:12.
Tetusaanidde kulowooza nti bulijjo tujja kusalawo mu ngeri ey’amagezi olw’okuba tumaze emyaka mingi nga tuweereza Yakuwa. Okusobola okusalawo obulungi, tulina okwesigira ddala Yakuwa, Ekigambo kye, n’ekibiina kye.—Yos 1:7, 8; Nge 3:5, 6; Mat 24:45.
MULABE VIDIYO, “MUBEERENGA N’OMUNTU OW’OMUNDA OMULUNGI,” OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Kiki Emma kye yalina okusalawo?
-
Lwaki tetusaanidde kukakaatika ku balala ndowooza yaffe bwe kituuka ku bintu bye balina okwesalirawo nga basinziira ku muntu waabwe ow’omunda?
-
Magezi ki abafumbo abamu ge baawa Emma?
-
Wa Emma we yaggya amagezi agaamuyamba?