Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU | WEEYONGERE OKUFUNA ESSANYU MU BUWEEREZA

Bye Tukozesa Okunoonyereza

Bye Tukozesa Okunoonyereza

Yakuwa atuwadde eby’okukozesa ebituyamba okuyigiriza obulungi, gamba nga vidiyo, tulakiti, magazini, brucuwa, ebitabo, n’eky’okukozesa ekisinga obukulu, ng’eno ye Bayibuli. (2Ti 3:16) Ate era, atuwadde eby’okukozesa mu kunoonyereza ebisobola okutuyamba okunnyonnyola obulungi ebyawandiikibwa. Bino bizingiramu Watchtower Library, JW Library, LAYIBULALE KU MUKUTU GWAFFE, n’Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza.

Ojja kufuna essanyu bw’onookozesa ebyo byonna ebituyamba mu kunoonyereza. Yamba abayizi bo okuyiga engeri y’okukozesaamu ebituyamba mu kunoonyereza. Nabo bajja kufuna essanyu bwe baneezuulira eby’okuddamu mu bibuuzo bye beebuuza.

MULABE VIDIYO, FUNA ESSANYU ERIVA MU KUFUULA ABANTU ABAYIGIRIZWA NG’OKKIRIZA OBUYAMBI YAKUWA BW’ATUWA​—BYE TUKOZESA OKUNOONYEREZA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Ndowooza ki Shanita gye yalina ku bitonde?

  • Wa Anita gye yaggya eby’okuddamu ebikwata ku nsonga eyo?

  • Tufuna essanyu bwe tufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye baba batubuuzizza

    Biki bye yalowoozaako ng’alonda ensonga eyali ekwata ku muyizi we?

  • Anita yaganyulwa atya bwe yakozesa ebyo ebituyamba okunoonyereza?