Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Kozesa Ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! mu Buweereza

Kozesa Ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! mu Buweereza

Nga tuli basanyufu nnyo okufuna brocuwa empya n’ekitabo ekipya eby’okukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli! Tusaba Yakuwa atuyambe okufuula abantu abalala bangi abayigirizwa. (Mat 28:18-20; 1Ko 3:6-9) Ebintu bino ebipya tunaabikozesa tutya?

Okuva bwe kiri nti tugenda kugoberera nkola mpya bwe tunaaba tukozesa brocuwa oba ekitabo Nnyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! nga tuyigiriza abantu Bayibuli, tusaanidde okugoberera obulagirizi buno wammanga nga tutegekera omuyizi wa Bayibuli era nga tumuyigiriza. *

  • Musome obutundu era mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo ebiba biweereddwa

  • Musome ebyawandiikibwa ebiriko ekigambo “soma,” era oyambe omuyizi okulaba engeri gy’asobola okubikolerako

  • Mulabe vidiyo, era mukubaganye ebirowoozo ku vidiyo eyo nga mukozesa ebibuuzo ebiba biweereddwa

  • Buli lwe musoma mufube okumalako essomo

Bw’oba mu buweereza, omuntu sooka kumuwa brocuwa olabe obanga aneeyongera okuyiga Bayibuli. (Laba akasanduuko, “ Engeri y’Okugabamu Brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! ku Mulundi Ogusooka.”) Bwe mumalako brocuwa n’olaba ng’omuyizi akyayagala okweyongera okuyiga, muwe ekitabo era mutandikire ku ssomo 04. Bw’oba ng’olina omuyizi gw’osoma naye mu katabo Bye Tuyiga oba Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda, muzze mu kitabo Nnyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! era opimeepimemu olabe we munaatandikira.

MULABE VIDIYO, WEEBALE KUTANDIKA KUYIGA BAYIBULI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Biki abayizi ba Bayibuli bye banaayiga mu kitabo ekipya?

  • Lwaki osaanidde okulaga abayizi ba Bayibuli abapya vidiyo?

  • Biruubirirwa ki by’osaanidde okukubiriza omuyizi wa Bayibuli okweteerawo n’okufuba okubituukako? (Laba akasanduuko “ Omulamwa n’Ekiruubirirwa kya Buli Kitundu.”)

^ lup. 4 WEETEGEREZE: Wadde ng’ebiri mu kitundu “Laba Ebisingawo” muyinza okubyogerako n’omuyizi oba obutabyogerako, bw’oba otegekera omuyizi soma ebiri mu kitundu ekyo era olabe ne vidiyo ezikirimu. Ekyo kijja kukuyamba okumanya ekiyinza okukwata ku muyizi wo, era ekisobola okumuyamba. Ekitabo ekiri ku masimu oba ku kompyuta kirimu linki za vidiyo n’eby’okusoma ebirala.

 OMULAMWA N’EKIRUUBIRIRWA KYA BULI KITUNDU

 

AMASOMO

OMULAMWA

OMUYIZI KY’ALINA OKUKOLA

1

01-12

Okulaba engeri Bayibuli gy’eyinza okuyambamu omuyizi n’okumanya ebikwata ku oyo eyagiwandiisa

Kubiriza omuyizi okusoma Bayibuli, okutegekanga buli ssomo ly’agenda okuyiga, n’okutandika okubaawo mu nkuŋŋaana

2

13-33

Okumanya ekyo Katonda kye yatukolera n’engeri gy’ayagala tumusinzeemu

Kubiriza omuyizi okubuulirako abalala by’ayiga n’okufuuka omubuulizi

3

34-47

Okuyamba omuyizi okumanya ekyo Katonda kye yeetaagisa abaweereza be

Yamba omuyizi okumanya obukulu bw’okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa

4

48-60

Okuyamba omuyizi okumanya engeri gy’ayinza okusigala mu kwagala kwa Katonda

Yigiriza omuyizi engeri gy’ayinza okwawulawo ekituufu n’ekikyamu era muyambe okumanya by’asaanidde okukola okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo