OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Abafumbo Balina Okubeera Awamu Ebbanga Lyonna Lye Bamala nga Balamu
Obufumbo bw’Abakristaayo obulungi buweesa Yakuwa ekitiibwa, era buleetera omwami n’omukyala okuba abasanyufu. (Mak 10:9) Okusobola okuba n’obufumbo obunywevu era obulimu essanyu, Abakristaayo balina okukolera ku misingi gya Bayibuli nga balonda omuntu ow’okuwasa oba ow’okufumbirwa.
Kya magezi okwogerezeganya n’omuntu ng’omaze “okuyita mu kiseera ekya kabuvubuka,” okwegomba okw’okwegatta we kubeerera okw’amaanyi era nga kusobola okukulemesa okusalawo obulungi. (1Ko 7:36) Ekiseera ky’omala ng’okyali bwannamunigina kikozese bulungi okunyweza enkolagana yo ne Katonda, n’okukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo. Ekyo kijja kukusobozesa okuba omwami oba omukyala omulungi.
Nga tonnasalawo kufumbiriganwa na muntu, waayo ekiseera ekimala okumanya ‘omuntu ow’ekyama ow’omu mutima,’ ow’omuntu oyo. (1Pe 3:4) Bwe wabaawo ebintu ebikulu by’obuusabuusa, byogereko naye. Obufumbo okusobola okubaamu essanyu, kisinziira nnyo ku ekyo ky’okolawo okulaba nti bubaamu essanyu, so si ku ekyo ky’obufunamu. (Baf 2:3, 4) Bw’okolera ku misingi gya Bayibuli nga tonnayingira bufumbo, kijja kukubeerera kyangu okweyongera okugikolerako ng’omaze okubuyingira, era obufumbo bwo bujja kubaamu essanyu.
MULABE VIDIYO OKWETEEKERATEEKERA OBUFUMBO—KITUNDU 3: ‘BALIRIRA EBYETAAGISA.’ OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
-
Mwannyinaffe yatandika atya okuba n’enkolagana ey’enjawulo ne Shane?
-
Kiki kye yeetegereza ng’enkolagana eyo egenda mu maaso?
-
Bazadde be baamuyamba batya, era yasalawo atya mu ngeri ey’amagezi?