Ssebutemba 19-25
1 BASSEKABAKA 13-14
Oluyimba 21 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Lwaki Kikulu Okubeera Omumativu n’Okuba Omwetoowaze?”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
1Sk 14:13—Ebyo ebiri mu lunyiriri luno bituyigiriza ki ku Yakuwa? (w10-E 7/1 lup. 29 ¶5)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) 1Sk 13:1-10 (th essomo 10)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Omulundi Ogusooka: (Ddak. 3) Tandika n’ennyanjula gye tukozesa mu kaweefube w’okutandika okuyigiriza abantu Bayibuli eri mu kitundu Bye Tuyinza Okwogerako. Ddamu omuntu atayagala kuwuliriza nga yeekwasa emu ku nsonga abantu ze batera okwekwasa mu kitundu kyammwe. (th essomo 7)
Okuddiŋŋana: (Ddak. 4) Weeyongera okumuyigiriza Bayibuli ng’otandikira we mwakoma ku mulundi ogwasooka, mu ssomo 01 erya brocuwa Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! (th essomo 9)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5) lff essomo 07 akatundu 5 (th essomo 19)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
“Toterebuka ng’Oyolekagana n’Ebizibu by’Eby’Enfuna”: (Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo Zimba Ennyumba Eneewangaala—Beera ‘Mumativu n’Ebintu by’Olina.’
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 19 akatundu 5-6 ne mu bufunze, okwejjukanya, n’eky’okukolako
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 56 n’Okusaba