EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Lwaki Kikulu Okubeera Omumativu n’Okuba Omwetoowaze?
Nnabbi wa Yakuwa yagaana ebirabo eby’ebbeeyi Yerobowaamu bye yali amuwa (1Sk 13:7-10; w08 8/15 lup. 7 ¶4)
Oluvannyuma nnabbi wa Yakuwa yajeemera ekiragiro kya Yakuwa ekyali kitegeerekeka obulungi (1Sk 13:14-19; w08 8/15 lup. 11 ¶15)
Obujeemu bwa nnabbi oyo bwamuviirako okufiirwa obulamu bwe (1Sk 13:20-22; w08 8/15 lup. 7 ¶10)
Bwe tuba abamativu ne bye tulina era ne tunoonya obulagirizi bwa Yakuwa nga tulina bye tusalawo, kituyamba okwewala ebizibu bingi.—1Ti 6:8-10.
WEEBUUZE: ‘Nnyinza ntya okukiraga nti ndi mumativu n’ebyetaago by’obulamu bye nnina? Nnyinza ntya okukiraga nti ndi mwetoowaze nga nnina bye nsalawo?’—Nge 3:5; 11:2.