OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Toterebuka ng’Oyolekagana n’Ebizibu by’Eby’Enfuna
Obulamu mu nnaku ez’enkomerero bujjudde ebizibu. Ng’enkomerero egenda esembera, ebizibu bijja kweyongera. Tuyinza okwesanga ng’ebintu ebimu bye twetaaga tetubirina. (Kab 3:16-18) Kiki ekinaatuyamba obutaterebuka nga twolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna? Tulina okweyongera okwesiga Yakuwa Katonda waffe. Yasuubiza nti ajja kulabirira abaweereza be, era asobola okutulabirira ka tube mu mbeera ki.—Zb 37:18, 19; Beb 13:5, 6.
Ky’oyinza okukola:
-
Saba Yakuwa akuwe obulagirizi n’amagezi, era musabe akuyambe.—Zb 62:8
-
Ba mwetegefu okukola omulimu gwonna, wadde ng’oyinza okuba nga togukolangako.—g 1/10 8-9, obusanduuko
-
Nnywerera ku nteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo, omuli okwesomera Ekigambo kya Katonda buli lunaku, okubangawo mu nkuŋŋaana, n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira
MULABE VIDIYO ZIMBA ENNYUMBA ENEEWANGAALA—BEERA ‘MUMATIVU N’EBINTU BY’OLINA,’ OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
-
Bizibu ki ab’omu maka agamu bye boolekagana nabyo?
-
Kintu ki ekisinga obukulu mu bulamu?
-
Tuyinza tutya okuyamba abo aboolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna?