EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Bw’Oba Owulira ng’Ebizibu Bikuyitiriddeko
Yobu bwe yali ayolekagana n’ebizibu obulamu bwe yabugeraageranya ku mirimu omuddu gy’awalirizibwa okukola (Yob 7:1; w06 4/1 lup. 30 ¶10)
Yabonaabona nnyo era ekyo yakyoleka ne mu bigambo (Yob 7:11)
Yatuuka n’okugamba nti yali takyayagala kweyongera kuba mulamu (Yob 7:16; w20.12 lup. 16 ¶1)
Bw’owulira ng’ebizibu bikuyitiriddeko, weeyabize Yakuwa mu kusaba era yogerako ne mukwano gwo gwe weesiga. Bw’onookola bw’otyo, kiyinza okukuyamba okufuna obuweerero.—g-E 1/12 lup. 16-17.