OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kozesa Ebyo Ebiri Awatandikirwa ku JW.ORG mu Buweereza Bwo
Awatandikirwa ku mukutu gwaffe wabaawo ebitundu ne vidiyo ebitegekebwa okuyamba abalina endowooza ennuŋŋamu abatali Bajulirwa ba Yakuwa. (Bik 13:48) Bitera okubaamu ebyo ebifulumira mu mawulire oba ebyo abantu bye batera okwogerako n’okulowoozaako.
Oyinza otya okukozesa ebyo ebiri awatandikirwa ku jw.org mu buweereza bwo?
-
Kebera ebyo ebiba biteekeddwa ku mukutu obutayosa. Weetegereze ebipya ebiba byakateekebwayo, ebiba wansi w’omutwe “Ebiriko,” era olabe engeri gy’oyinza okubikozesaamu okuyamba abo abaagala okumanya ebikwata ku Katonda. (Okusobola okufuna ebirala ebyali byateekebwa awatandikirwa, nyiga ku bigambo “Laba n’Ebirala.”) Bw’ofuba okumanya ebipya ebyakateekebwa ku mukutu gwaffe kijja kukuyamba okuba n’ebipya eby’okwogerako ng’obuulira.
-
Kozesa ebitundu ne vidiyo ebiteekebwa awatandikirwa ku mukutu gwaffe okutandika okunyumya n’abantu. Bijja kukuyamba okumanya ebintu abantu bye bayinza okuba nga balowoozaako.
-
Laga abantu awatandikirwa ku mukutu gwaffe. Balage ebimu ku bintu ebiriko era obalage n’engeri gye bayinza okukozesaamu omukutu gwaffe.
-
Weereza linki. Abantu abamu bayinza obutaagala kwogera naffe butereevu, naye bayinza okwagala okugenda ku mukutu gwaffe. N’olwekyo tolonzalonza kuweereza abo abaagala okumanya ebisingawo linki ebatwala awatandikirwa ku jw.org oba ey’ekitundu kyonna eky’okusoma oba vidiyo.