Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Weeyongere Okukiraga Nti Oyagala Nnyo Yakuwa

Weeyongere Okukiraga Nti Oyagala Nnyo Yakuwa

[Mulabe vidiyo, Ennyanjula y’Ekitabo kya Yobu.]

Sitaani yagamba nti Yobu yali ayagala Katonda era nti yali amuweereza olw’okwagala okubaako bye yeefunira (Yobu 1:​8-11; w18.02 lup. 6 ¶16-17)

Sitaani agamba nti tetwagala Yakuwa na mutima gwaffe gwonna (Yobu 2:​4, 5; w19.02 lup. 5 ¶10)

Yakuwa awadde buli omu ku ffe akakisa okukyoleka nti Sitaani mulimba. (Nge 27:11) Tusobola okukiraga nti twagala nnyo Yakuwa nga tukulembeza okukola by’ayagala mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu.