OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Yamba Abo Abatettanira bya Ddiini Okumanya Omutonzi Waabwe
Ofunamu enkenyera okubuulira abantu abatettanira bya ddiini ng’olowooza nti bayinza obutakuwuliriza? Bwe kiba kityo, kijjukire nti abantu bangi abaali batettanira bya ddiini nga mw’otwalidde n’abo abaali batakkiriza nti eriyo Katonda, bafuuse Abajulirwa ba Yakuwa. Ebiseera ebisinga kye baali beetaaga kwe kubayamba okufuna obukakafu obulaga nti Katonda gyali.—Bar 1:20; 10:14.
MULABE VIDIYO KIJJUKIRE NTI ABANTU ABATALINA KUKKIRIZA BASOBOLA OKUFUNA OKUKKIRIZA!—ABANTU ABATETTANIRA BYA DDIINI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EKIBUUZO KINO:
Ekyokulabirako kya Tommaso kisobola kitya okukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu okubuulira abantu abatettanira bya ddiini?