OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe Okufuna Amagezi Agava Eri Katonda
Emu ku ngeri esinga obulungi abazadde gye basobola okuyamba abaana baabwe okuganyulwa mu magezi agava eri Katonda, kwe kubayamba okuganyulwa mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Ebyo abato bye balaba, bye bawulira, ne bye baddamu mu nkuŋŋaana bisobola okubayamba okuyiga ebikwata ku Yakuwa era n’okumufuula mukwano gwabwe ow’oku lusegere. (Ma 31:12, 13) Bw’oba oli muzadde, osobola otya okuyamba omwana wo okuganyulwa mu nkuŋŋaana?
-
Fuba okubangawo mu nkuŋŋaana ku kizimbe ky’Obwakabaka.—Zb 22:22
-
Waangayo obudde okunyumyako ne bakkiriza banno ku Kizimbe ky’Obwakabaka ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde.—Beb 10:25
-
Kakasa nti buli omu ku b’omu maka go alina ebitabo bye tuba tukozesa mu nkuŋŋaana ka bibe ebyo ebikube mu kyapa, oba ebyo ebiba ku ssimu
-
Yamba omwana wo okutegeka eky’okuddamu mu bigambo bye.—Mat 21:15, 16
-
Yogera ku birungi ebiri mu kubangawo mu nkuŋŋaana, ne ku bulagirizi bwe tufunayo
-
Yamba abaana bo okwenyigira mu mirimu egikolebwa ku Kizimbe ky’Obwakabaka, gamba ng’okuyonja era bayambe basobole okunyumyako ne bakkiriza bannaffe abakuze mu myaka
Okusobola okuyamba abaana bo okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kyetaagisa okufuba era olumu kiyinza obutaba kyangu. Wadde kiri kityo, osobola okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kukuyamba.—Is 40:29.
MULABE VIDIYO ABAZADDE MWESIGE YAKUWA ABAWE AMAANYI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
-
Obukoowu bwakosa butya Zack ne Leah?
-
Lwaki abazadde basaanidde okwesiga Yakuwa okubawa amaanyi?
-
Mu ngeri ki Zack ne Leah gye beesigamu Yakuwa okubayamba?