Ssebutemba 11-17
ESEZA 3-5
Oluyimba 85 n’Okusaba
Ennyanjula (Ddak. 1)
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yamba Abalala Okukozesa Obusobozi Bwabwe mu Bujjuvu”: (Ddak. 10)
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo: (Ddak. 10)
Es 4:12-16—Tuyinza tutya okulwanirira eddembe lyaffe ery’okusinza nga Eseza ne Moluddekaayi bwe baakola? (kr-E lup. 160 ¶14)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno by’osobola okukozesa mu buweereza, ebikwata ku Yakuwa, oba ku kintu ekirala?
Okusoma Bayibuli: (Ddak. 4) Es 3:1-12 (th essomo 2)
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Vidiyo Eraga Okuddiŋŋana: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo, Okuddiŋŋana: Obwakabaka—Mat 14:19, 20. Muyimirize vidiyo buli awali akabonero ak’okugiyimiriza era obuuze ebibuuzo ebiragiddwa mu vidiyo.
Okuddiŋŋana: (Ddak. 3) Tandika n’ebiri mu kitundu, Bye Tuyinza Okwogerako. Mubuulire ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli, era omuwe kkaadi eyogera ku nteekateeka eyo. (th essomo 16)
Okuyigiriza Omuntu Bayibuli: (Ddak. 5) lff essomo 12 ennyanjula n’akatundu 1-3 (th essomo 15)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Beera Mukwano gwa Yakuwa—Eseza Yayoleka Obuvumu: (Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo. Mulabe vidiyo. Bwe kiba kisoboka buuza abaana be wategese nga bukyali ekibuuzo kino: Mu ngeri ki gye wandyagadde okwoleka obuvumu nga Eseza?
Ebyetaago by’Ekibiina: (Ddak. 10)
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina: (Ddak. 30) lff essomo 57
Okufundikira (Ddak. 3)
Oluyimba 125 n’Okusaba