Okitobba 21-27
ZABBULI 100-102
Oluyimba 37 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Kirage nti Osiima Okwagala kwa Yakuwa Okutajjulukuka
(Ddak. 10)
Kulaakulanya okwagala okw’amaanyi eri Yakuwa (Zb 100:5; w23.03 lup. 12 ¶18-19)
Weewale ebintu ebisobola okukuleetera okwonoona enkolagana yo ne Yakuwa (Zb 101:2, 3; w23.02 lup. 17 ¶10)
Weewale abo aboogera eby’obulimba ku Yakuwa n’ekibiina kye (Zb 101:5; w11 7/15 lup. 16 ¶7-8)
WEEBUUZE, ‘Engeri gye nkozesaamu emikutu emigattabantu eyinza okuleetera enkolagana yange ne Yakuwa okwonooneka?’
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
Zb 102:6—Lwaki omuwandiisi wa Zabbuli yeegeraageranya ku kinyonyi ekiyitibwa kimbala? (it-2-E lup. 596)
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Zb 102:1-28 (th essomo 12)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 3) NNYUMBA KU NNYUMBA. (lmd essomo 2 akatundu 3)
5. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 5) NNYUMBA KU NNYUMBA. Mulage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli. (lmd essomo 9 akatundu 4)
6. Okunnyonnyola Abalala Ebyo by’Okkiririzaamu
(Ddak. 4) Okulaga ekyokulabirako. Ijwbq-E 129—Omutwe: Ebiri mu Bayibuli Byakyusibwamuko? (th essomo 8)
Oluyimba 137
7. ‘Nkunywereddeko, era Onnywezezza’
(Ddak. 15)
Kukubaganya birowoozo. Mulabe VIDIYO. Oluvannyuma buuza abawuliriza:
Ana yayoleka atya okwagala okutajjulukuka?
Tuyinza tutya okumukoppa?
8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 17 ¶1-7