Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okitobba 28–Noovemba 3

ZABBULI 103-104

Okitobba 28–Noovemba 3

Oluyimba 30 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. “Ajjukira Nti Tuli Nfuufu”

(Ddak. 10)

Obusaasizi bwa Yakuwa bumuleetera obutaba mukakanyavu (Zb 103:8; w23.07 lup. 21 ¶5)

Yakuwa mwetegefu okutusonyiwa bwe tukola ensobi (Zb 103:​9, 10; w23.09 lup. 6-7 ¶16-18)

Tatusuubira kukola bye tutasobola (Zb 103:14; w23.05 lup. 26 ¶2)

WEEBUUZE, ‘Engeri gye mpisaamu munnange mu bufumbo eraga nti nkoppa obutali bukakanyavu bwa Yakuwa?’

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 104:24—Ennyiriri ezo zituyigiriza ki ku busobozi bwa Yakuwa obw’okutonda ebintu eby’enjawulo n’ebipya? (cl lup. 55 ¶18)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. (lmd essomo 3 akatundu 4)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Kubaganya ebirowoozo n’omuntu eyakkiriza okuyiga Bayibuli ku vidiyo Weebale Kukkiriza Kuyiga Bayibuli. (th essomo 9)

6. Okwogera

(Ddak. 5) lmd Ebyongerezeddwako A akatundu 6—Omutwe: Omusajja “Agwanidde Okwagalanga Mukyala we nga bwe Yeeyagala Kennyini.” (th essomo 1)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 44

7. Omanyi Obusobozi Bwo we Bukoma?

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Bwe tuwa Yakuwa ekisingayo obulungi kimusanyusa era naffe kitusanyusa. (Zb 73:28) Kyokka bwe tusalawo okukola ekyo ekisingayo obulungi nga tetulowoozezza ku busobozi bwaffe we bukoma kisobola okutuviirako okweraliikirira n’okuggwaamu amaanyi.

Mulabe VIDIYO Okuba n’Endowooza Ennuŋŋamu Kitusobozesa Okuwa Yakuwa Ekisingayo Obulungi. Oluvannyuma buuza abawuliriza:

  • Kiki Yakuwa ky’atusuubiramu? (Mik 6:8)

  • Kiki ekyayamba mwannyinaffe oyo okukendeeza ku kutya kwe yalina ng’aluubirira okutuuka ku kiruubirirwa kye?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 55 n’Okusaba