Ssebutemba 16-22
ZABBULI 85-87
Oluyimba 41 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Okusaba Kutuyamba Okugumiikiriza
(Ddak. 10)
Saba Yakuwa akuwe essanyu (Zb 86:4)
Saba Yakuwa akuyambe osigale ng’oli mwesigwa (Zb 86:11, 12; w12 5/15 lup. 25 ¶10)
Ba mukakafu nti Yakuwa ajja kuddamu essaala zo (Zb 86:6, 7; w23.05 lup. 13 ¶17-18)
WEEBUUZE, ‘Nsaba emirundi egiwerako bwe nfuna ebizibu, era mmala ekiseera ekiwanvuko nga nsaba?’—Zb 86:3.
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
-
Ebyo Dawudi bye yasaba mu Zabbuli 86:11 biraga ki ku mutima gw’omuntu? (it-1-E lup. 1058 ¶5)
-
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Zb 86:1–87:7 (th essomo 12)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Mubuulire ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli. (lmd essomo 3 akatundu 5)
5. Weeyongere Okuyamba Abantu
(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Omuntu yakugamba nti embeera eriwo mu nsi leero emweraliikiriza; mubuulire ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli. (lmd essomo 7 akatundu 4)
6. Okufuula Abantu Abayigirizwa
(Ddak. 5) lff essomo 15 akatundu 5. Buulira omuyizi wo ku nteekateeka gy’okoze, asobole okusoma nga toliiwo wiiki ejja. (lmd essomo 10 akatundu 4)
Oluyimba 83
7. Toggwaamu Maanyi
(Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo.
Mulabe VIDIYO. Oluvannyuma obuuze abakuwuliriza:
-
Lwaki ebiseera ebimu tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi nga tubuulira?
-
Lwaki tetusaanidde kulekera awo kubuulira?
8. Weeyongere Okutandika Okuyigiriza Abantu Bayibuli!
(Ddak. 10) Kukubaganya birowoozo.
Olina omuntu gwe watandika okuyigiriza Bayibuli ng’okozesa akatabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! mu kaweefube ow’enjawulo omwezi guno? Bwe kiba bwe kityo, oteekwa okuba ng’oli musanyufu, era n’abalala bateekwa okuba nga bazziddwamu nnyo amaanyi. Ku luuyi olulala, bw’oba nga tonnafuna muntu gw’oyigiriza Bayibuli oyinza okulowooza nti okufuba kwo kwa bwereere. Kiki ky’oyinza okukola bw’oba ng’owulira oweddemu amaanyi?
Mulabe VIDIYO “Tukiraga nti Tuli Baweereza ba Katonda . . . mu Kuba Abagumiikiriza” —Nga tubuulira. Oluvannyuma obuuze abakuwuliriza:
-
Ebyo ebiri mu 2 Abakkolinso 6:4, 6 biyinza bitya okutuyamba ng’obuweereza bwaffe bufaananako ng’omuntu asuula ekintu mu kinnya ekitakoma?
-
Nkyukakyuka ki z’oyinza okukola ng’ofubye okunoonya gw’oyigiriza Bayibuli naye n’otamufuna?
Kijjukire nti essanyu lyaffe teriva ku muwendo gw’abantu be tuyigiriza Bayibuli, wabula liva mu kukimanya nti Yakuwa asiima okufuba kwaffe. (Luk 10:17-20) N’olwekyo weeyongere okwenyigira mu kaweefube ono ow’enjawulo mu bujjuvu, ng’okimanyi nti ‘okutegana kwo si kwa bwereere mu Mukama waffe’!—1Ko 15:58.
9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 15 ¶13-14, akasanduuko ku lup. 137