Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ssebutemba 2-8

ZABBULI 79-81

Ssebutemba 2-8

Oluyimba 29 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Yagala Erinnya lya Yakuwa ery’Ekitiibwa

(Ddak. 10)

Weewale okukola ekintu kyonna ekitaweesa Yakuwa kitiibwa (Zb 79:9; w17.02 lup. 9 ¶5)

Koowoola erinnya lya Yakuwa (Zb 80:18; ijwbv-E 3 ¶4-5)

Yakuwa awa emikisa abo abakiraga nti baagala erinnya lye nga bamugondera (Zb 81:​13, 16)

Enneeyisa yaffe okusobola okuweesa Yakuwa ekitiibwa, tulina okumanyisa abalala nti tuli bajulirwa ba Yakuwa

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 80:1—Lwaki erinnya lya Yusufu oluusi lyakozesebwanga okukiikirira ebika bya Isirayiri byonna? (it-2-E lup. 111)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 1) NNYUMBA KU NNYUMBA. Mubuulire ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli. (lmd essomo 4 akatundu 4)

5. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Mubuulire ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli. (lmd essomo 4 akatundu 3)

6. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 2) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. Mubuulire ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli. (lmd essomo 3 akatundu 3)

7. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 5) NNYUMBA KU NNYUMBA. Laga omuntu atakkiriza kuyiga Bayibuli mu biseera eby’emabega, engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli. (lmd essomo 8 akatundu 3)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 10

8. “Balitukuza Erinnya Lyange”

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Sitaani yatandikira mu lusuku Edeni okusiiga erinnya lya Yakuwa enziro. Okuva olwo, abantu ne bamalayika balina okusalawo obanga banaatukuza erinnya lya Yakuwa oba nedda.

Weetegereze ebimu ku bintu eby’obulimba Sitaani by’ayogedde ku Yakuwa. Agamba nti Katonda afuga mu ngeri ey’obukambwe era etali ya kwagala. (Lub 3:​1-6; Yob 4:​18, 19) Era agamba nti abaweereza Yakuwa tebamwagala kuviira ddala ku mutima. (Yob 2:​4, 5) Ate era aleetedde abantu bukadde na bukadde okukkiriza nti Yakuwa si ye yatonda ebintu ebirungi bye tulaba ebitwetoolodde.—Bar 1:​20, 21.

Obulimba obwo bukuleetera kuwulira otya? Oboolyawo bukuleetera okwagala okubaako ky’okolawo okulwanirira erinnya lya Yakuwa! Yakuwa yakimanya nti abantu be bandyagadde okuyambako mu kutukuza erinnya lye. (Geraageranya Isaaya 29:23.) Oyinza otya okuyambako mu kutukuza erinnya lya Yakuwa?

  • Yamba abalala okumanya Yakuwa n’okumwagala. (Yok 17:​25, 26) Beera mwetegefu okuwa obukakafu obulaga nti ddala Katonda gy’ali era n’okuyigiriza abalala ku ngeri ze ez’ekitalo.—Is 63:7

  • Yagala Yakuwa n’omutima gwo gwonna. (Mat 22:​37, 38) Togondera mateeka ga Yakuwa olw’okuba ga muganyulo gy’oli kyokka, naye era gagondere olw’okwagala okumusanyusa.—Nge 27:11

Mulabe VIDIYO Okwagala Tekulemererwa Wadde nga . . . B’Osoma Nabo Tebagoberera Mitindo gya Katonda. Oluvannyuma buuza abawuliriza:

  • Biki Ariel ne Diego bye baakola ebyalaga nti baagala Yakuwa?

  • Kiki ekyabaleetera okunywerera ku Yakuwa?

  • Oyinza otya okubakoppa?

9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 90 n’Okusaba