Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ssebutemba 23-29

ZABBULI 88-89

Ssebutemba 23-29

Oluyimba 22 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Obufuzi bwa Yakuwa bwe Busingayo Obulungi

(Ddak. 10)

Yakuwa afuga mu ngeri ey’obwenkanya (Zb 89:14; w17.06 lup. 28 ¶5)

Obufuzi bwa Yakuwa buleetera abantu okufuna essanyu erya nnamaddala (Zb 89:​15, 16; w17.06 lup. 29 ¶10-11)

Obufuzi bwa Yakuwa bujja kubeerawo emirembe gyonna (Zb 89:​34-37; w14 10/15 lup. 10 ¶14)

Okufumiitiriza ku ngeri esingayo obulungi Yakuwa gy’afugamu kisobola okutuyamba okusigala nga tetulina ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi, nga tulabye oba nga tuwulidde ebintu ebirina akakwate n’eby’obufuzi

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 89:37—Njawulo ki eriwo wakati w’obwesigwa bw’omwezi n’obwesigwa abantu bwe booleka? (cl lup. 281 ¶4-5)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. Buulira omuntu atakkiririza mu Yesu ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza abantu Bayibuli. (lmd essomo 5 akatundu 5)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 4) NNYUMBA KU NNYUMBA. Mulage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli. (th essomo 9)

6. Okunnyonnyola Abalala Ebyo by’Okkiririzaamu

(Ddak. 5) Okwogera. Ijwbq-E 181—Omutwe: Biki Bayibuli by’Eyogerako? (th essomo 2)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 94

7. Emitindo gya Yakuwa Gye Gisingayo Obulungi

(Ddak. 10) Kukubaganya Birowoozo.

Abantu bangi emitindo egiri mu Bayibuli egikwata ku bufumbo n’okwegatta bagiraba ng’egikugira ennyo era ng’egyava ku mulembe. Oli mukakafu nti okukolera ku mitindo gya Yakuwa kye kisingayo obulungi?—Is 48:​17, 18; Bar 12:2.

Bayibuli egamba nti abo abagaana okukolera ku mitindo gya Katonda egy’empisa “tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.” (1Ko 6:​9, 10) Naye eyo ye nsonga yokka eyandikuletedde okukolera ku mitindo gya Katonda?

Mulabe VIDIYO Nyweza Okukkiriza Kwo—Okunywerera ku Mitindo gya Katonda. Oluvannyuma buuza abawuliriza:

  • Emitindo gya Katonda egy’empisa gitukuuma gitya?

8. Ebyetaago by’Ekibiina

(Ddak. 5)

9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 15 ¶15-20

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 133 n’Okusaba