Ssebutemba 30–Okitobba 6
ZABBULI 90-91
Oluyimba 140 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)
1. Weesige Yakuwa Osobole Okuwangaala
(Ddak. 10)
Tetusobola kwongezaayo bbanga lye tumala nga tuli balamu (Zb 90:10; wp19.3 lup. 5 ¶3-5)
Yakuwa abeerawo “okuva emirembe gyonna okutuusa emirembe gyonna” (Zb 90:2; wp19.1 lup. 5, akasanduuko)
Yakuwa asobola okuwa abo abamwesiga obulamu obutaggwaawo, era ajja kububawa (Zb 21:4; 91:16)
Toyonoona nkolagana yo ne Yakuwa ng’okkiriza enkola ez’obujjanjabi ezimenya emitindo gye.—w22.06 lup. 18 ¶16-17.
2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
(Ddak. 10)
-
Zb 91:11—Ndowooza ki ennuŋŋamu gye tusaanidde okuba nayo ku buyambi bwa bamalayika? (wp17.5 lup. 5)
-
Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?
3. Okusoma Bayibuli
(Ddak. 4) Zb 91:1-16 (th essomo 10)
4. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 3) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Nga tokozesezza Bayibuli, leetera omuntu okukubuulira ebyo ebimusanyusa oba ebimweraliikiriza, olabe engeri Bayibuli gy’esobola okumuyambamu. (lmd essomo 1 akatundu 3)
5. Okutandika Okunyumya n’Abantu
(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. (lmd essomo 1 akatundu 4)
6. Okwogera
(Ddak. 5) lmd ebyongerezeddwako A akatundu 5—Omutwe: Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna ku Nsi. (th essomo 14)
Oluyimba 158
7. Siima Obugumiikiriza bwa Yakuwa—Engeri Yakuwa gy’Atunuuliramu Ebiseera
(Ddak. 5) Kukubaganya birowoozo.
Mulabe VIDIYO. Oluvannyuma buuza abawuliriza:
-
Okumanya engeri Yakuwa gy’atwalamu ebiseera kiyinza kitya okutuyamba okulindirira n’obugumiikiriza ebyo bye yasuubiza?
8. Ebikolebwa Ekibiina
9. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina
(Ddak. 30) bt sul. 16 ¶1-5, akasanduuko ku lupapula 146