Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ssebutemba 9-15

ZABBULI 82-84

Ssebutemba 9-15

Oluyimba 80 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

Omu ku batabani ba Koola ng’atunuulira ekisu ky’akataayi ekiri ku yeekaalu

1. Siima Enkizo z’Olina

(Ddak. 10)

Tusiima obuweereza bwaffe (Zb 84:​1-3; wp16.6 lup. 8 ¶2-3)

Sanyuka olw’ebyo by’osobola okukola mu kifo ky’okussa ebirowoozo ku ebyo by’otasobola kukola (Zb 84:10; w08 7/15 lup. 30 ¶3-4)

Yakuwa mulungi eri abo bonna abamuweereza n’obwesigwa (Zb 84:11; w20.01 lup. 17 ¶12)

Buli nkizo gye tufuna mu kibiina kya Yakuwa ebaamu emikisa n’ebisoomooza. Ebirowoozo bw’obissa ku mikisa gy’ofuna, oba musanyufu ng’otuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna obuba bukuweereddwa.

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak.10)

  • Zb 82:3—Lwaki kikulu okufaayo ku abo “abatalina bakitaabwe” abali mu kibiina? (it-1-E lup. 816)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Lumirirwa Abalala—Ekyo Yesu Kye Yakola

(Ddak. 7) Kukubaganya birowoozo. Mulabe VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo lmd essomo 9 akatundu 1-2.

5. Lumirirwa Abalala—Koppa Yesu

(Ddak. 8) Kukubaganya birowoozo lmd essomo 9 akatundu 3-5 ne “Laba ne.”

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 57

6. Ebyetaago by’Ekibiina

(Ddak. 15)

7. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 130 n’Okusaba