Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | ABAVUBUKA

Ky’Oyinza Okukola nga Wazzeewo Enkyukakyuka

Ky’Oyinza Okukola nga Wazzeewo Enkyukakyuka

OKUSOOMOOZA

  • Omulimu gwa muzadde wo gubeetaagisa okugenda okubeera mu kifo ekirala.

  • Mukwano gwo gw’oyagala ennyo agenda kusenguka.

  • Mukulu wo agenda kufumbirwa.

Kiki ekiyinza okukuyamba okwaŋŋanga enkyukakyuka ng’ezo?

Omuti ogwewunzikira ku ludda omuyaga gye gudda emirundi mingi tegumenyeka. Okufaananako omuti ogwo, naawe osobola okutuukana n’enkyukakyuka eziba zizzeewo, naddala ezo z’otolina ky’oyinza kuzikolako. Naye nga tetunnalaba ngeri ekyo gy’oyinza kukikolamu, ka tusooke tulabe ebintu ebimu by’osaanidde okumanya ku nkyukakyuka ezijjawo.

BY’OSAANIDDE OKUMANYA

Tosobola kwewala nkyukakyuka. Ng’eyogera ku bantu, Bayibuli egamba nti: “Ebintu ebitasuubirwa bibatuukako bonna.” (Omubuulizi 9:11) Ekiseera kyonna suubira okwolekagana n’enkyukakyuka. Naye tekiri nti buli nkyukakyuka ejjawo nga tetugisuubira eba mbi. Enkyukakyuka ezimu mu kusooka ezirabika ng’embi, oluvannyuma zivaamu ebirungi. Kyokka abantu abasinga obungi tekibanguyira kwaŋŋanga nkyukakyuka eziba zizzeewo ka zibe nnungi oba mbi.

Okusingira ddala abaana abali mu myaka egya kaabuvubuka bakaluubirirwa nnyo nga wazzeewo enkyukakyuka. Lwaki? Alex * agamba nti: “Oba oyolekagana n’enkyukakyuka ez’amaanyi ezigenda mu maaso mu mubiri gwo ate ne wajjawo enkyukakyuka endala.”

Abantu abakulu bwe boolekagana n’enkyukakyuka basobola okulowooza ku ngeri gye baakwatamu embeera efaananako ng’eyo mu biseera eby’emabega ne kibayamba okwaŋŋanga enkyukakyuka eyo eba ezzeewo. Naye bo abavubuka embeera ezimu baba tebaziyitangamuko.

Yiga okutuukana n’embeera. Abantu abatuukana n’embeera baba basobola bulungi okwaŋŋanga enkyukakyuka eziba zizzeewo. Enkyukakyuka bwe zijjawo, bazigumira era essira balissa ku birungi ebiyinza okuva mu nkyukakyuka ezo. Abavubuka abasobola okutuukana n’embeera, tebatera kukozesa biragalalagala oba kunywa mwenge nga wazzeewo embeera ebakaluubiridde.

KY’OYINZA OKUKOLA

Kkiriza enkyukakyuka. Kya lwatu nti wandyagadde buli kimu mu bulamu bwo kigende nga bw’okyagala, naye ekyo tekisoboka. Ekiseera kijja kutuuka mikwano gyo basenguke oba bafumbirwe; baganda bo bajja kukula bave awaka; embeera ziyinza okubeetaagisa okuva mu kitundu we mubeera okudda mu kirala, bw’otyo n’oleka mikwano gyo n’ebintu by’omanyidde. Kya magezi okukkiriza enkyukakyuka mu kifo ky’okubeera awo ng’olowooza ku bintu ebikumalamu amaanyi.Amagezi okuva mu Bayibuli: Omubuulizi 7:10.

Lowooza ku by’omu maaso. Okumalira ebirowoozo ku bintu eby’emabega kiba ng’okuvuga emmotoka ng’amaaso go ogamalidde mu kalabirwamu akalaga ebintu eby’emabega. Wadde ng’omuvuzi w’emmotoka kimwetaagisa okugira n’atunulako katono mu kalabirwamu ako, amaaso ge alina kugassa mu maaso gy’alaga. Bwe kityo bwe kirina okuba nga wazzeewo enkyukakyuka mu bulamu bwo. Ebirowoozo byo fuba okubikuumira ku bintu eby’omu maaso. (Engero 4:25) Ng’ekyokulabirako, kiruubirirwa ki kye wandyagadde okutuukako mu mwezi ogujja oba mu myezi omukaaga egijja?

Essira lisse ku birungi. Omuvubuka ayitibwa Laura agamba nti: “Endowooza omuntu gy’aba nayo ekola kinene mu kumuyamba okutuukana n’embeera. Kiba kirungi okulowooza ku bintu ebirungi ebiri mu nkyukakyuka eba ezzeewo.” Osobola okunokolayo waakiri ekintu kimu ekirungi ekiri mu nkyukakyuka gy’oyolekagana nayo?Amagezi okuva mu Bayibuli: Omubuulizi 6:9.

Omuwala ayitibwa Victoria ow’emyaka 21 agamba nti bwe yali mu myaka gye egy’obutiini, mikwano gye gyonna baasenguka ne bagenda. Agamba nti: “Nnawulira ekiwuubaalo eky’amaanyi, nga muli ŋŋamba nti singa ebintu bisigadde nga bwe bibadde bulijjo. Naye bwe ndowooza ku kiseera ekyo, nkiraba nti awo we nnatandikira okukula mu birowoozo. Nnakiraba nti omuntu okukula mu birowoozo aba alina okuyita mu nkyukakyuka. Ate era awo we nnakirabira nti waaliwo abantu abalala bangi be nnali nsobola okufuula mikwano gyange.”Amagezi okuva mu Bayibuli: Engero 27:10.

Okumalira ebirowoozo ku bintu eby’emabega kiba ng’okuvuga emmotoka ng’amaaso go ogamalidde mu kalabirwamu akalaga ebintu eby’emabega

Kolera abalala ebirungi. Bayibuli egamba nti: ‘Temufaayo ku byammwe byokka naye mufeeyo ne ku by’abalala.’ (Abafiripi 2:4) Ekimu ku biyinza okukuyamba okwaŋŋanga okusoomooza kw’oyitamu kwe kuyamba abalala aboolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Anna, ow’emyaka 17, agamba nti: “Bwe nzize nkula, nkirabye nti bwe nnyamba ku muntu ayolekagana n’okusoomooza okufaananako n’okwange, oba okw’amaanyi okusinga okwange, kinnyamba nnyo!”

^ lup. 11 Amannya agamu mu kitundu kino gakyusiddwa.