Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Lwaki Twetaaga Okuba n’Essuubi?

Lwaki Twetaaga Okuba n’Essuubi?

Lwaki Twetaaga Okuba n’Essuubi?

WATYA singa Daniel, omwana ayogeddwako mu kitundu ekiwedde yali asigadde ng’alina essuubi? Yandisobodde okuwona kookolo? Yandibadde akyali mulamu leero? N’abantu abakkiririza ennyo mu bukulu bw’okuba n’essuubi, ekyo tebasobola kukikkiriza. N’olwekyo waliwo ekintu ekikulu ennyo kye tusaanidde okujjukira. Tetusaanidde kulowooza nti essuubi lisobola okuwonya obulwadde bwonna omuntu bw’aba nabwo, oba okumalawo ebizibu byonna by’aba nabyo.

Omusawo ayitibwa Nathan Cherney bwe yali ayogerera ku mukutu gw’amawulire ogumu, yalaga akabi akali mu kulowooza nti omulwadde omuyi bw’aba n’essuubi, buli kimu kiba kisoboka. Yagamba nti: “Oluusi tulaba abaami nga banenya bakyala baabwe nti tebafumiitirizza kimala era nti tebafubye kulowooza ku bintu ebizzaamu amaanyi.” Cherney agattako nti: “Obulwadde bw’omuntu bwe bweyongera okunyiinyiitira, abantu ababa n’endowooza eyo baba ng’abagamba nti abadde alina ky’ayinza okukolawo okuziyiza, ka tugeze ekizimba, okweyongera okukula, ate ng’ekyo tekisoboka.”

Ekituufu kiri nti, omuntu aba n’obulwadde obutawona obuba bugenda okumuviirako okufa, embeera gy’aba ayitamu teba nnyangu. N’olwekyo, tekiba kikolwa kya kisa okuleetera omulwadde ng’oyo okulumirizibwa omutima. Kati olwo tugambe nti okuba n’essuubi tekirina mugaso gwonna?

Si bwe kiri, omusawo oyo y’omu bw’aba ajjanjaba abantu, okusingira ddala essira talissa ku kulwanyisa bulwadde butereevu oba okwongezaayo obulamu bw’abantu, wabula alissa ku kulaba nti omulwadde abeera mu mbeera ennungi nga bwe kisoboka, ebbanga lyonna ly’amala nga tannafa. Abasawo abalina endowooza ng’eyiye bakkiriza nti obujjanjabi obuyamba omulwadde, k’abe muyi, obutennyamira bukulu nnyo. Waliwo obukakafu obulaga nti omuntu bw’aba n’essuubi kimuyamba obutennyamira.

Ensonga Lwaki Kikulu Okuba n’Essuubi

Omusawo ayitibwa W. Gifford-Jones yagamba nti: “Essuubi ddagala lya maanyi.” Yeekenneenya okunoonyereza okutali kumu okwakolebwa okusobola okumanya obukulu bw’okubudaabuda abantu ababa n’obulwadde obuba bugenda okubaviirako okufa. Kigambibwa nti abalwadde abaweebwa obuyambi ng’obwo batera okuba n’essuubi era tebatera kuggwaamu maanyi. Okunoonyereza okulala okwakolebwa mu 1989 kwalaga nti abalwadde abaaweebwa obuyambi obwo baabeerawo ebbanga ggwanvuko okusinga bwe kyandibadde. Naye okunoonyereza okulala okukoleddwa mu myaka egyakayita tekuwagira nnyo nsonga eyo. Kyokka okunoonyereza okukoleddwa kukakasa nti abalwadde ababudaabudibwa tebennyamira nnyo era tebafuna bulumi bwa maanyi nga bwe kyandibadde nga tebabudaabudiddwa.

Lowooza ku kunoonyereza okulala okwakolebwa okwalaga engeri okulowooza ku bintu ebizzaamu amaanyi n’ebimalamu amaanyi gye kirina akakwate n’obulwadde obumu obw’omutima. Abasajja abasukka mu 1,300 be baanoonyerezebwako. Oluvannyuma lw’emyaka kkumi, kyazuulibwa nti 12 ku buli kikumi ku basajja abo baalina obulwadde bw’omutima. Ku basajja abo abaali abalwadde, omuwendo gw’abo abaali balowooza ku bintu ebimalamu amaanyi gwali kukubisaamu emirundi ebiri ogw’abo abaali balowooza ku bintu ebizzaamu amaanyi. Omusawo ayitibwa Laura Kubzansky akolera ku ttendekero erimu ery’abasawo agamba nti: “Obujulizi obusinga obungi obulaga nti okuba n’endowooza ennungi kiyamba obulamu bw’abantu bubadde buva eri abantu kinnoomu; naye oluvannyuma lw’okunoonyereza kuno, abasawo kati bakakasa nti endowooza omuntu gy’aba nayo erina akakwate n’endwadde z’omutima.”

Waliwo okunoonyereza okwalaga nti abantu abalowooza nti embeera y’obulamu bwabwe mbi nnyo batera okuyisibwa obubi nga balongooseddwa, okusinga abo abalowooza nti embeera y’obulamu bwabwe si mbi nnyo. Ate era kirowoozebwa nti okuwangaala kw’omuntu kulina akakwate n’endowooza ennungi gy’aba nayo. Okunoonyereza okulala kwalaga engeri abakadde gye bakwatibwako olw’endowooza ennungi oba etali nnungi gye baba nayo ku bintu ebijjawo olw’obukadde. Abakadde bwe baagambibwa nti omuntu bw’akaddiwa yeeyongera okuba omugezi era nti aba n’obumanyirivu bungi mu bintu ebitali bimu, baatandika okutambuza amaanyi. Mu butuufu amaanyi ge baalina gaali genkana n’ago ge bandifunye nga bakoze dduyiro okumala wiiki 12!

Lwaki ebintu ng’essuubi n’okulowooza ku bintu ebizzaamu amaanyi kirabika birina kye biyamba ku bulamu? Oboolyawo bannassaayansi n’abasawo tebannategeera bulungi ngeri ndowooza y’omuntu n’omubiri gwe gye bikolamu okusobola okumanya eky’okuddamu. Naye abo abanoonyereza ku bintu ebyo balina ebintu eby’omuganyulo bye bazudde. Ng’ekyokulabirako, omusawo omu ajjanjaba endwadde ezikosa obusimu bw’omubiri agamba nti: “Bw’oba omusanyufu era ng’olina essuubi oba owulira bulungi. Kiyamba omubiri okuba nga mukkakkamu, era kiganyula nnyo omubiri. Kye kimu ku bintu ebisobola okuyamba abantu okuba abalamu obulungi.”

Endowooza eyo eyinza okwewuunyisa abasawo abamu ne bannassaayansi kubanga mpya gye bali. Naye si mpya eri abo abasoma Bayibuli. Emyaka nga 3,000 emabega, Kabaka Sulemaani yaluŋŋamizibwa okugamba nti: “Omutima omusanyufu ddagala ddungi, naye omwoyo omwennyamivu gunafuya omubiri.” (Engero 17:22) Weetegereze nti olunyiriri olwo terugamba nti omutima omusanyufu guwonya buli bulwadde, wabula lugamba nti “ddagala ddungi.”

N’olwekyo bwe kiba nti essuubi ddagala, musawo ki atandiriwadde balwadde be? Naye essuubi terikoma ku kuyamba muntu kuba mulamu bulungi.

Engeri Okuba n’Essuubi oba Obutaba na Ssuubi Gye Kikwata ku Bulamu Bwo

Abanoonyereza bakizudde nti abantu abasuubira ebintu ebirungi baganyulwa mu ngeri nnyingi. Batera okukola obulungi ku ssomero, ku mirimu, ne mu by’emizannyo. Ng’ekyokulabirako, waliwo okunoonyereza okwakolebwa ku ttiimu emu ey’abakazi abaddusi. Abatendesi baabuuzibwa ebibuuzo ku ekyo ekyandivudde mu misinde era ne bawa endowooza yaabwe nga basinziira ku busobozi bw’abakazi abo kinnoomu. Abakazi nabo baawa endowooza yaabwe nga basinziira ku ssuubi lye baalina. Ebyavaamu byalaga nti essuubi abakazi abo lye baalina lyabayamba okukola obulungi okusinga obusobozi bwe baalina. Lwaki essuubi likola kinene nnyo ku bulamu bw’omuntu?

Waliwo bingi ebizuuliddwa ebiraga ebizibu ebiva mu butaba na ssuubi. Mu myaka gya 1960, waliwo okunoonyereza okwakolebwa ku nneeyisa y’ensolo okwaviirako abanoonyereza okukizuula nti obuteesobola busobola okuyigibwa. Baakizuula nti abantu nabo basobola okufuna ekizibu ekyo. Ng’ekyokulabirako, waliwo abantu be baateeka mu kifo ekimu omwali ebireekaana era ne babagamba nti baali basobola okubaako amapeesa ge banyiga ne baggyako amaloboozi g’ebintu ebyo. Abantu abo baasobola kuggyako amaloboozi ago.

Ekibinja eky’okubiri eky’abantu nakyo kyateekebwa mu kifo ekyo era ne bagambibwa okukola ekintu kye kimu, naye amapeesa gaali tegakola. Bangi ku abo abaali mu kibinja ekyo eky’okubiri baatandika okulowooza nti baali tebalina kye bayinza kukolawo kuggyako maloboozi ago. Ku mirundi egyaddako, baali tebaagala kubaako kintu kyonna kye bakola. Baali bakakafu tewaali kye basobola kukolawo kuggyako maloboozi ago. Kyokka mu kibinja ekyo eky’okubiri, abo abaalina essuubi bo baasigala bagezaako nga bakakafu nti basobola okuggyako amaloboozi ago.

Omusawo ayitibwa Seligman, omu ku abo abaakola okunoonyereza okwo yasalawo okwemalira ku kunoonyereza ku ngeri okuba n’essuubi n’obutaba na ssuubi gye kikwata ku bulamu bw’omuntu. Yeekenneenya abantu abalowooza nti bo buli kimu tebakisobola. Endowooza ng’eyo eviirako abantu obutakola bulungi bintu oba okubalemeseza ddala okubaako kye bakola. Seligman awumbawumbako bw’ati ku ebyo ebivaamu omuntu bw’atasuubira bintu birungi: “Emyaka abiri mu etaano gye mmaze nga nnoonyereza nkizudde nti omuntu bw’aba nga buli kiseera alowooza nti ebintu ebibi bijja kumutuukako oba nti tebijja kuvaawo, ekyo kikosa buli kimu ky’akola, era emirundi mingi ebintu ebyo bimutuukako.”

Endowooza eyo nayo eyinza okulabika ng’empya eri abantu abamu leero, naye si mpya eri abo abasoma Bayibuli. Bayibuli egamba nti: “Bw’oterebuka mu kiseera eky’okulabiramu ennaku, amaanyi go gajja kuba matono.” (Engero 24:10) Mazima ddala nga Bayibuli bw’eraga, okuggwaamu essuubi kimalamu omuntu amaanyi. Naye kiki ky’osobola okukola okulwanyisa ekizibu ky’obutaba na ssuubi, n’osobola okuba n’essuubi mu bulamu bwo?

[Ekifaananyi]

Okuba n’essuubi kyamuganyulo nnyo