Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Osobola Okutuuka ku Buwanguzi!

Osobola Okutuuka ku Buwanguzi!

Osobola Okutuuka ku Buwanguzi!

EKISEERA kituuse ‘obe muvumu era okole.’ (1 Ebyomumirembe 28:10) Bintu ki ebisembayo by’osobola okukola okusobola okutuukira ddala ku buwanguzi?

Ssaawo olunaku. Ekitongole ekimu eky’omu Amerika ekikola ku by’obulamu kigamba nti bw’osalawo okuva ku ssigala, olunaku lw’onootandika obutanywa ssigala, terulina kuba nga lusussa wiiki bbiri okuva lw’osazeewo. Ekyo kijja kukuyamba okusigala ng’oli mumalirivu okulekera awo okunywa ssigala. Olunaku olwo lulambe ku kalenda yo, buulirako mikwano gyo, era lunywerereko.

Kola kaadi. Kaadi eyo oyinza okugiwandiikako ebintu bino wammanga, oba ekintu ekirala kyonna ky’olaba nti kijja kukuyamba okusigala ng’oli mumalirivu okulekera awo okunywa ssigala:

● Ensonga lwaki oyagala okulekayo okumunywa

● Ennamba z’abantu b’oyinza okukubirako lw’onooba owulira ng’oyoya okunywa ssigala

● Amagezi aganaakuyamba, oboolyawo okuva mu Bayibuli, gamba ng’agali mu Abaggalatiya 5:22, 23

Tambula ne kaadi eyo buli w’olaga, era gisome emirundi mingi buli lunaku. N’oluvannyuma lw’okulekera awo okunywa ssigala, weeyongere okusoma kaadi eyo buli lw’owulira ng’oyoya okunywa ssigala.

Fuba okuleka ebintu ebirina akakwate n’omuze gwo ogw’okunywa ssigala. Ng’olunaku lw’oba osazeewo okulekera awo okunywa ssigala terunnatuuka, tandika okuleka ebintu ebirina akakwate n’omuze gwo ogw’okunywa ssigala. Ng’ekyokulabirako, bw’oba ng’onywa ssigala buli ku makya nga waakazuukuka, leka wayitewo essaawa emu oba n’okusingawo nga tonnaba kumunywa. Bw’oba ng’onywa ssigala ng’olya emmere oba amangu ddala nga waakamala okulya emmere, fuba okulaba ng’ekyo okikomya. Weewale okubeera mu bifo omuli abanywa ssigala. Weegezeemu enfunda n’enfunda ng’oyogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Weebale. Naye ssigala nnamuvaako.” Ebintu ebyo bijja kukuyamba okweteekerateekera olunaku lw’ojja okuva ku ssigala. Ate era bijja kukuyamba okukijjukira nti ekiseera kijja kutuuka obe nga tokyanywera ddala ssigala.

Weeteeketeeke. Olunaku lw’onootandikirako obutanywa ssigala bwe lunaaba lunaatera okutuuka, baako obuntu bw’otegekawo obw’okugaayagaayako, gamba nga karoti, ebinyeebwa, swiiti, n’ebirala. Jjukiza mikwano gyo n’ab’omu maka go olunaku lw’onootandikirako obutanywa ssigala, era n’engeri gye bayinza okukuyambamu. Olunaku olwo nga lunaatera okutuuka, ggyawo obuntu mw’oteeka evvu lya ssigala, obukoleeza ssigala, n’obutundutundu bwa ssigala obuba awaka wo, mu nsawo yo, mu mmotoka yo, oba w’okolera. Kiba kyangu okunywa ssigala bw’oba gy’omulina mu kabada yo, okusinga okusaba mukwano gwo akuweeko oba okumwegulira. Ate era weeyongere okusaba Katonda akuyambe, naddala okuva ku lunaku lw’onoosembayo okunywa ssigala.—Lukka 11:13.

Abantu bangi nnyo basobodde okuvvuunuka omuze gw’okunywa ssigala, naawe osobola. Bw’oneekutula ku muze ogwo, kijja kuganyula nnyo obulamu bwo era ojja kufuna essanyu ery’okuva mu buddu bw’okunywa ssigala.

[Ekifaananyi]

Tambula ne kaadi eyo buli w’olaga, era gisome emirundi mingi buli lunaku