Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Saba Obuyambi

Saba Obuyambi

Saba Obuyambi

“Omuntu ayinza okusinza amaanyi oyo ali yekka, naye ababiri tasobola kubasinza maanyi.”—Omubuulizi 4:12.

ABALALA bwe batuyambako tusobola okuvvuunuka ekizibu, ka kibe kya ngeri ki. N’olwekyo bw’oba oyagala okulekera awo okunywa ssigala, kiba kirungi okusaba obuyambi okuva eri ab’eŋŋanda zo, mikwano gyo, oba omuntu yenna omwetegefu okukuyamba era anaakugumiikiriza.

Oyinza okusaba abo abavvuunuka omuze gw’okunywa ssigala okukuyamba, kubanga baba bamanyi bulungi embeera gy’oyitamu era baba baagala okukuyamba. Torben, abeera mu Denmark agamba nti: “Nnaganyulwa nnyo mu buyambi bwe nnafuna okuva eri abalala.” Ate ye Abraham, abeera mu Buyindi agamba nti: “Okwagala okwa nnamaddala ab’omu maka gange ne Bakristaayo bannange kwe bandaga, kwannyamba okulekera awo okunywa ssigala.” Naye oluusi n’obuyambi bw’ab’omu maka oba ab’emikwano buyinza obutamala.

Omusajja ayitibwa Bhagwandas agamba nti: “Nnanywa ssigala okumala emyaka 27, naye bwe nnayiga ekyo Bayibuli ky’eyogera ku mize emibi, nnalekera awo okumunywa. Nnagezaako okugenda nga nkendeeza eminwe gya ssigala gye nnywa, nnakyusa emikwano, era ne ŋŋenda ne mu bakugu okunnyamba okwekutula ku muze ogwo, naye byonna tebyannyamba. Lumu ekiro nneeyabiza Yakuwa Katonda mu kusaba, ne mmusaba annyambe okulekayo omuze ogwo. Era kyaddaaki nnagulekayo!”

Ekintu ekirala ekikulu ky’osaanidde okukola kwe kwetegekera emiziziko gy’oyinza okusanga ng’ofuba okwekutula ku muze gw’okunywa ssigala. Miziziko ki egyo? Tugenda kugiraba mu kitundu ekiddako.

[Akasanduuko]

WANDIKOZESEZZA EDDAGALA?

Bangi bettanira nnyo eddagala eriyamba abantu okwekutula ku muze gw’okunywa ssigala. Naye nga tonnasalawo kukozesa ddagala ng’eryo, sooka ofumiitirize ku bibuuzo bino:

Miganyulo ki egirimu? Kigambibwa nti lingi ku ddagala eryo likendeeza ku bizibu omuntu by’afuna mu mubiri ng’alekedde awo okunywa ssigala. Bangi babuusabuusa obanga ddala eddagala eryo liyamba.

Bizibu ki ebirimu? Erimu ku ddagala eryo lireetera abantu okusinduukirirwa emmeeme, okwennyamira, oba okufuna ebirowoozo by’okwetta. Ate era kikulu okukijjukira nti eddagala erigambibwa nti liyamba omuntu okulekera awo okunywa ssigala, nalyo ligwa mu kiti kya biragalalagala era liyinza okuba ery’obulabe eri omubiri. Mu butuufu, omuntu alikozesa era ayinza okufuuka omuddu waalyo.

Kiki ekirala ekisobola okuyamba? Mu kunoonyereza okumu okwakolebwa, abantu 88 ku buli kikulu ku abo abaasobola okwekutula ku muze gw’okunywa ssigala baagamba nti baamulekayo omulundi gumu nga tebakozesezza ddagala lyonna.