Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weetegekere Ebizibu Ebijjawo

Weetegekere Ebizibu Ebijjawo

Weetegekere Ebizibu Ebijjawo

“Nnasalawo okulekera awo okunywa ssigala olw’okuba nnali nkimanyi nti yali wa bulabe eri omwana waffe eyali yaakazaalibwa. Bwe kityo, nnatimba akapande mu nnyumba yaffe akaaliko ekigambo, ‘Tewali Kunywa Ssigala.’ Kyokka waayita essaawa emu yokka ne mpulira nga njoya ssigala, era mu kiseera ekyo kyennyini nnakoleeza omunwe gwa ssigala.”—Yoshimitsu, abeera mu Japan.

NG’EKYOKULABIRAKO kya Yoshimitsu bwe kiraga, omuntu aba agezaako okulekera awo okunywa ssigala ayolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Ate era okunoonyereza kulaga nti 90 ku kikumi eky’abantu ababa bagezaako okwekutula ku muze gw’okunywa ssigala bwe baddamuko okumunywa, basigala bamunywera ddala. N’olwekyo, bw’oba ng’ogezaako okulekera awo okunywa ssigala, kijja kukwanguyira singa oba weetekeddeteekedde ebizibu by’ojja okwolekagana nabyo ng’olwanyisa omuze ogwo. Ebimu ku bizibu abo aba bagezaako okulekera awo okunywa ssigala bye babuna bye biruwa?

Okuwulira ng’oyoya nnyo okunywa ssigala: Okwoya okwo kutera okuba okw’amaanyi ennyo mu nnaku essatu ezisooka ng’olekedde awo okunywa ssigala, era kugenda kuggwaawo oluvannyuma lwa wiiki nga bbiri. Omusajja omu eyalekera awo okunywa ssigala agamba nti, “Mu kiseera ekyo okwoya okunywa ssigala kujjawo biseera bimu na bimu; oba tomuyoya buli kiseera.” Kyokka ne bwe waba nga wayiseewo emyaka, waliwo lw’oyinza okuwulira ng’oyoya nnyo okunywa ssigala. Ekyo bwe kibaawo, toyanguyigiriza kubaako ky’okolawo. Okwoya okwo kujja kugenda.

Ebizibu ebirala: Mu kusooka, abantu ababa bagezaako okwekutula ku muze gw’okunywa ssigala bayinza okuwulira nga buli kiseera baagala kwebaka, bayinza okukisanga nga kizibu okussaayo omwoyo ku bintu bye baba bakola, oba batera okussaako amangu omubiri. Ate era bayinza okufuna obulumi mu mubiri, okusiiyibwa, okutuuyana, okukolola, oba bayinza okunyiiganyiiga amangu oba okwennyamira. Kyokka ebisinga obungi ku bizibu ebyo bigenda bikendeera wakati wa wiiki nnya n’omukaaga.

Mu kiseera ng’oyolekagana n’ebizibu ebyo, waliwo ebintu by’osobola kukola ebisobola okukuyamba. Ng’ekyokulabirako:

● Yongera ku biseera by’omala nga weebaka.

● Nywa amazzi mangi, oba eby’okunywa ebirala gamba ng’omubisi. Lya emmere ey’omugaso eri omubiri.

● Kola dduyiro.

● Sika omukka mungi era okube akafaananyi ng’ojjuzza amawuggwe go empewo ennungi.

Ebikuleetera okwoya okunywa ssigala: Waliwo ebintu ebisobola okukuleetera okwoya okunywa ssigala. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba nga bw’obaddenga oliko eky’okunywa ekimu ky’onywa, ng’okinywa ng’eno bw’onywa ne ssigala. Bwe kiba kityo, kati ng’olwanyisa omuze gw’okunywa ssigala, bw’oba onywa eky’okunywa ekyo, tokinywa mpolampola. Ekiseera bwe kinaagenda kiyitawo, ojja kusobola okunywa eky’okunywa ekyo mpolampola nga tekikuleetera kwoya kunywa ssigala.

Ne bwe waba nga wayiseewo ekiseera ng’omubiri gwo guweddemu ekirungo ekiyitibwa nicotine ekibeera mu taaba, wayinza okubaawo ebikuleetera okuwulira ng’oyoya ssigala. Torben, ayogeddwako waggulu agamba nti, “Wadde nga kati wayise emyaka kkumi na mwenda nga ndekedde awo okunywa ssigala, mu biseera eby’okuwummulamu ku mulimu mba mpulira nga njagala kunywa ssigala.” Kyokka okwoya okunywa ssigala kw’ofuna ng’olina ebintu ebimu by’okola, kujja kugenda kuggwaawo mpolampola.

Naye tekiba bwe kityo bw’oba ng’onywa omwenge. Mu butuufu, bw’oba ng’ogezaako okwekutula ku muze gw’okunywa ssigala, kiyinza okukwetaagisa okulekera awo okunywa omwenge n’okwewala okubeera mu bifo gye banywera omwenge. Ekyo kiri bwe kityo kubanga abantu abasinga obungi ababa bagezaako okwekutula ku muze gw’okunywa ssigala, baddamu okumunywa mu biseera nga banywa omwenge. Lwaki kiri bwe kityo?

● Omuntu ne bw’anywako omwenge akatono kimuviirako okwoya ssigala.

● Abantu batera okunywa ssigala bwe baba nga banywera wamu omwenge ne bannaabwe.

● Omwenge guleetera omuntu okusalawo mu ngeri etali ya magezi, era gumuviirako n’okukola ebintu by’atandikoze mu mbeera eya bulijjo. Kituukirawo okuba nga Bayibuli egamba nti: ‘Omwenge gumalawo okutegeera.’—Koseya 4:11.

Abantu b’Oteera Okubeera Nabo: Weegendereze ng’osalawo abantu b’otera okubeerako nabo. Ng’ekyokulabirako, weewale okubeera awamu n’abantu abanywa ssigala, oba abakukubiriza okumunywa. Ate era weewale okubeera awamu n’abantu abagezaako okukumalamu amaanyi oba abakujerega olw’okuba ofuba okulekera awo okunywa ssigala.

Enneewulira: Okunoonyereza okumu kwalaga nti abantu bibiri bya kusatu eby’abo abaddamuko okunywa ssigala oluvannyuma lw’okumuvaako, bagamba nti baasookanga kuwulira nga beeraliikiridde oba nga bennyamivu oba nga banyiize ne balyoka booya okunywa ssigala. Bwe kiba nti waliwo enneewulira gy’ofuna ekuviirako okwoya ssigala, baako ky’okola okuwugula ebirowoozo. Ng’ekyokulabirako, osobola okunywa ku mazzi, okunuuna swiiti, oba okutambulatambulako. Gezaako okukola ebintu ebinaakuyamba okuba n’endowooza ennungi, gamba ng’okusaba Katonda akuyambe, oba okusomayo essuula ntonotono mu Bayibuli.—Zabbuli 19:14.

Weewale Okwekwasa Obusongasonga

Ŋŋenda kunywako katono.

Ekituufu kiri nti: Bw’oyingiza omukka gwa ssigala omulundi gumu gwokka bwe guti, oba oyingizza kimu kya kubiri eky’ekirungo kya nicotine ekimala mu mubiri gwo essaawa ssatu. Emirundi egisinga ekyo kiviirako omuntu okuddiramu ddala okunywa ssigala.

Ssigala annyamba obuteeraliikirira nnyo.

Ekituufu kiri nti: Okunoonyereza kulaga nti ekirungi kya nicotine ekibeera mu taaba kyongera bwongezi kuleetera muntu kweraliikirira. Abantu abamu okuwulira nti balekera awo okweraliikirira nga banywedde ssigala kiva ku kuba nti baba bawadde emibiri gyabwe ekirungi kya nicotine gwe kiba kyetaaga.

Ssigala mmunyweredde ekiseera kiwanvu; sisobola kumuvaako.

Ekituufu kiri nti: Bw’oba nga tokkiriza nti osobola okulekera awo okunywa ssigala, kibeera kizibu nnyo okumuvaako. Bayibuli egamba nti: “Bw’oterebuka mu kiseera eky’okulabiramu ennaku, amaanyi go gajja kuba matono.” (Engero 24:10) N’olwekyo, weewale okulowooza nti tosobola okulekayo kunywa ssigala. Omuntu yenna ayagala okulekera awo okunywa ssigala era akolera ku magezi amalungi, gamba ng’ago agaweereddwa mu katabo kano, asobola okuvvuunuka omuze ogwo.

Ebizibu bye nfuna bwe ndekera awo okunywa ssigala bimpisa bubi nnyo.

Ekituufu kiri nti: Kyo kituufu nti omuntu bw’alekera awo okunywa ssigala afuna obuzibu mu mubiri, naye bugenda bukendeera oluvannyuma lwa wiiki ntono. N’olwekyo tolekera awo kufuba! Singa oddamu okwoya ssigala oluvannyuma lw’emyezi oba emyaka ng’omaze okumuvaako, oluvannyuma lw’eddakiika ntono ojja kulekera awo okumuyoya, kasita weewala okukoleeza omunwe gwa ssigala.

Nnina obulwadde bw’obwongo.

Ekituufu kiri nti: Bw’oba ng’ojjanjabibwa obulwadde bw’obwongo, gamba ng’okwennyamira oba okutabuka omutwe, saba omusawo akujjanjaba akuyambe okulekera awo okunywa ssigala. Ajja kukuyamba, oboolyawo ng’akyusa ku bujjanjabi bw’akuwa.

Bwe nnaava ku ssigala ate ne nziramuko okumunywa, kijja kuba kitegeeza nti nnemereddwa.

Ekituufu kiri nti: Okufaananako abantu bangi ababa bagezaako okuvvuunuka omuze gw’okunywa ssigala, bw’onoova ku ssigala naye n’oddamuko okumunywa, kijja kuba tekitegeeza nti tosobola kumuvaako. Toggwaamu maanyi; weeyongere okulwana. Ojja kusobola okwekutula ku muze ogwo.

Lowooza ku Romualdo eyanywa ssigala okumala emyaka 26, era nga kati wayise emyaka 30 bukya amuvaako. Agamba nti: “Nnagezaako enfunda n’enfunda okulekera awo okunywa ssigala, naye nga nziramu ne mmunywa. Buli lwe nnaddangamu okunywa ssigala nnawuliranga bubi nnyo, era nga ndowooza nti sirisobola kumuvaako. Kyokka bwe nnamalirira okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda, era ne mmusaba enfunda n’enfunda okunnyamba, nnasobola okwekutulira ddala ku muze ogwo.”

Mu kitundu ekiddako tugenda kulaba ebintu ebitali bimu ebisobola okukuyamba okuba omusanyufu ng’olekedde awo okunywa ssigala.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi]

TAABA WA BULABE

Taaba akozesebwa mu ngeri nnyingi. Oluusi bamutabula ne mu by’okulya ebimu ebitundibwa era ne mu ddagala erimu. Wadde kiri kityo, ekitongole ekikola ku by’obulamu mu nsi yonna kigamba nti “taaba k’abe ng’atabuddwamu ki oba k’abe nga bamutadde mu ki, wa bulabe.” Taaba asobola okuleeta endwadde zinnamutta, gamba nga kookolo, oba obulwadde bw’omutima. Bamaama abali embuto bwe banywa ssigala, kikosa abaana baabwe ababa batannazaalibwa. Bintu ki ebitera okukolebwa mu taaba?

Obugolo: Buno buba nga bussigala obumpi ennyo, era bunuusibwa bunuusibwa. Babukola nga baddira ensaano ya taaba ne bakikulunga mu ngalo, ne bagisiba mu bupapula. Obugolo buno buba bwa bulabe nnyo n’okusinga ssigala owa bulijjo.

Emisokoto gya taaba: Gino bagikola nga baddira ensaano ya taaba ne bagizinga mu kikoola kya taaba oba mu kipapula. Okwawukana ku ssigala owa bulijjo, omuntu bw’ateeka omusokoto ku mumwa, ekirungo kya nicotine kiyingira mu mubiri gwe ne bw’aba nga tannaba kukoleeza musokoto ogwo.

Ssigala ayitibwa clove: Ono abaamu ebitundu 60 ku kikumi ebya taaba, n’ebitundu 40 ebya clove. Naye wa bulabe okusinga ssigala owa bulijjo.

Emmindi: Okufuuwa emmindi nakyo kya bulabe ng’okunywa ssigala, era nakyo kiyinza okuviirako omuntu okufuna kookolo n’endwadde endala.

Taaba atali wa kufuuweeta: Kino kizingiramu okugaaya taaba oba okumunuusa. Okukozesa taaba mu ngeri eno nakyo kiviirako ekirungo kya nicotine okuyingira mu musaayi nga kiyitira mu kamwa, era nakyo kya bulabe eri obulamu.

Obupiira bw’amazzi: Muno muzingiramu ebintu gamba nga shisha. Abakozesa enkola eno, omukka gwa taaba gwe basika gusooka kuyita mu mazzi agabeera mu kantu akalinga akacupa oba akasumbi. Naye ekyo tekikendeeza butwa bubeera mu taaba.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi]

OKUYAMBA OMUNTU OKWEKUTULA KU MUZE GW’OKUNYWA SSIGALA

Yogera ebizzaamu amaanyi. Okusiima omuntu n’okumuzzaamu amaanyi kisinga okumuvumirira oba okumugamba eky’okukola buli kaseera. Ng’ekyokulabirako, okugamba omuntu nti, “Ndowooza bw’oddamu okugezaako okulwana ojja kusobola okuguvvuunuka,” kisinga okumugamba nti, “Era ozzeemu omuze gwo?”

Sonyiwa. Omuntu aba agezaako okulwanyisa omuze gw’okunywa ssigala bw’akukambuwalira oba bw’akuyisa mu ngeri etali ya kisa, fuba okwefuga.Yogera naye mu ngeri ey’ekisa. Ng’ekyokulabirako, oyinza okumugamba nti, “Nkimanyi nti embeera gy’oyitamu si nnyangu. Naye ndi musanyufu okuba nti ofuba.” Weewalire ddala okumugamba nti, “Wali muntu mulungiko nga tonnaba kulekera awo kunywa ssigala.”

Beera wa mukwano owa nnamaddala. Bayibuli egamba nti: “Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ebbanga lyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.” (Engero 17:17) Fuba okuba omugumiikiriza eri omuntu agezaako okwekutula ku muze gw’okunywa ssigala, era mulage okwagala “ebbanga lyonna.”