Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 8

“Mubeere nga Mutegeera Bulungi, Mubeere Bulindaala!”

“Mubeere nga Mutegeera Bulungi, Mubeere Bulindaala!”

“Mubeere nga mutegeera bulungi, mubeere bulindaala.”​—1 PEET. 5:8.

OLUYIMBA 144 Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!

OMULAMWA a

1. Kiki Yesu kye yagamba abagoberezi be ku bikwata ku nkomerero, era kulabula ki kwe yabawa?

 BWE waali wabulayo ennaku ntono Yesu attibwe, abayigirizwa be bana baamubuuza nti: “Kabonero ki akaliraga . . . amafundikira g’enteekateeka y’ebintu?” (Mat. 24:3) Abayigirizwa abo bayinza okuba nga baali beebuuza engeri gye banditegeddemu nti enkomerero y’enteekateeka y’Ekiyudaaya enaatera okutuuka. Yesu bwe yali abaddamu, teyakoma ku kubabuulira ebikwata ku nkomerero y’enteekateeka y’Ekiyudaaya, naye era yababuulira n’ebikwata ku ‘mafundikira g’enteekateeka y’ebintu,’ nga kye kiseera kino kye tulimu. Bwe yali ayogera ku bikwata ku lunaku enkomerero lw’enejjirako, Yesu yagamba nti: “Eby’olunaku olwo oba ekiseera, tewali abimanyi, ka babe bamalayika mu ggulu, oba Omwana, wabula Kitange.” Oluvannyuma yagamba abagoberezi be bonna okusigala nga ‘batunula’ era ‘n’okuba obulindaala.’​—Mak. 13:32-37.

2. Lwaki Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka kyali kibeetaagisa okuba obulindaala?

2 Abakristaayo Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka okusobola okuwonyaawo obulamu bwabwe, baalina okusigala nga bali bulindaala. Yesu yabuulira abagoberezi be ekintu kwe banditegeeredde nti enkomerero y’enteekateeka y’Ekiyudaaya yali anaatera okutuuka. Yabagamba nti: “Bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa amagye, awo mumanyanga nti okuzikirizibwa kwakyo kunaatera okutuuka.” Ekyo bwe bandikirabye, bandikoledde ku kulabula kwa Yesu ne batandikirawo ‘okuddukira mu nsozi.’ (Luk. 21:20, 21) Abo abaakolera ku kulabula okwo baawonawo Abaruumi bwe baazikiriza Yerusaalemi.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Leero, tuli mu kiseera eky’enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu. N’olwekyo, naffe tulina okusigala nga tutegeera bulungi era nga tuli bulindaala. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri gye tuyinza obutagwa lubege nga bwe twetegereza ebigenda mu maaso mu nsi, engeri gye tuyinza okwewalamu ebiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa, era n’engeri gye tuyinza okukozesaamu obulungi ekiseera ekisigaddeyo.

TOGWA LUBEGE NG’OLABA EBIGENDA MU MAASO MU NSI

4. Lwaki twagala nnyo okumanya engeri ebintu ebigenda mu maaso mu nsi gye bituukirizaamu obunnabbi bwa Bayibuli?

4 Waliwo ensonga ennungi lwaki twagala okulaba engeri ebyo ebigenda mu maaso mu nsi gye bituukirizaamu obunnabbi bwa Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, Yesu yatubuulira ebintu ebiwerako ebyandituyambye okumanya nti enkomerero y’enteekateeka ya Sitaani enaatera okutuuka. (Mat. 24:3-14) Ate omutume Peetero yatukubiriza okussaayo omwoyo ku kutuukirizibwa kw’obunnabbi, okukkiriza kwaffe kusobole okusigala nga kunywevu. (2 Peet. 1:19-21) Ekitabo ekisembayo mu Bayibuli kitandika n’ebigambo bino: “Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebintu ebiteekwa okubaawo amangu.” (Kub. 1:1) N’olwekyo, twagala nnyo okulaba engeri ebintu ebigenda mu maaso mu nsi gye bituukirizaamu obunnabbi obuli mu Bayibuli. Era tuyinza okwagala ennyo okukubaganya ebirowoozo ku bintu ng’ebyo.

Bwe tuba tukubaganya ebirowoozo ku bunnabbi bwa Bayibuli, kiki kye tusaanidde okwewala era kiki kye tulina okukola? (Laba akatundu 5) b

5. Kiki kye tusaanidde okwewala, era kiki kye tusaanidde okukola? (Laba n’ebifaananyi.)

5 Kyokka bwe tuba tukubaganya ebirowoozo ku bunnabbi bwa Bayibuli, tusaanidde okwewala okuteebereza ebyo ebiyinza okubaawo. Lwaki? Kubanga tetwagala kwogera kintu kyonna ekiyinza okuleetawo enjawukana mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuwulira abakulembeze b’ensi nga boogera ku ngeri gye bajja okukomya olutalo olumu basobole okuleetawo emirembe n’obutebenkevu. Mu kifo ky’okuteebereza nti ebigambo ng’ebyo bituukiriza obunnabbi obuli mu 1 Abassessalonika 5:3, tusaanidde okujjukira ebyo ebyasembayo okuwandiikibwa mu bitabo byaffe ebikwata ku nsonga eyo. Ebyo bye twogera n’abalala bwe tubyesigamya ku ebyo ebiri mu bitabo ebikubibwa ekibiina kya Yakuwa, kisobozesa ekibiina okusigala nga kiri bumu “mu ndowooza.”​—1 Kol. 1:10; 4:6.

6. Biki bye tuyiga mu 2 Peetero 3:11-13?

6 Soma 2 Peetero 3:11-13. Omutume Peetero atuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu bwe tuba tusoma obunnabbi bwa Bayibuli. Atukubiriza ‘okukuumira mu birowoozo byaffe okujja kw’olunaku lwa Yakuwa.’ Lwaki? Si lwa kuba nti twagala okumanyira ddala “olunaku n’essaawa” Yakuwa lw’ajja okuleeta Amagedoni, naye lwa kuba twagala okukozesa obulungi ekiseera ekisigaddeyo nga tukola “ebikolwa eby’okwemalira ku Katonda.” (Mat. 24:36; Luk. 12:40) Mu ngeri endala, twagala okweyongera okweyisa obulungi, era n’okukakasa nti buli kimu kye tukola mu buweereza bwaffe eri Yakuwa tukikola olw’okuba tumwagala. Ekyo okusobola okukikola, tulina okwewala ebyo ebiyinza okwonoona enkolagana yaffe naye.

WEEWALE EBIYINZA OKWONOONA ENKOLAGANA YO NE YAKUWA

7. Kiki Yesu kye yakubiriza abagoberezi be okukola? (Lukka 21:34)

7 Yesu teyakoma ku kukubiriza abagoberezi be okulowooza ku ebyo ebigenda mu maaso mu nsi, naye era yabakubiriza okwewala ebiyinza okwonoona enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Ekyo kyeyolekera bulungi mu bigambo bye ebiri mu Lukka 21:34. (Soma.) Weetegereze nti Yesu yagamba nti: “Mwekuumenga.” Omuntu eyeekuuma afuba okumanya ebiyinza okwonoona enkolagana ye ne Yakuwa, era akola kyonna ekisoboka okubyewala. Mu ngeri eyo, yeekuumira mu kwagala kwa Katonda.​—Nge. 22:3; Yud. 20, 21.

8. Kubuulirira ki omutume Pawulo kwe yawa Abakristaayo?

8 Omutume Pawulo naye yawa Abakristaayo okubuulirira okufaananako bwe kutyo. Yagamba Abakristaayo ab’omu Efeso nti: “Mwegendereze nnyo engeri gye mutambulamu; temutambula ng’abatalina magezi naye ng’abalina amagezi.” (Bef. 5:15, 16) Sitaani akola butaweera okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. N’olwekyo, Bayibuli etukubiriza okufuba ‘okutegeeranga Yakuwa ky’ayagala’ kitusobozese okwewala emitego gya Sitaani.​—Bef. 5:17.

9. Tuyinza tutya okumanya Yakuwa ky’ayagala?

9 Bayibuli tetubuulira byonna ebisobola okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Emirundi mingi tuba tulina okusalawo ku bintu ebitoogerwako butereevu mu Bayibuli. Okusobola okusalawo obulungi ku bintu ng’ebyo, kiba kitwetaagisa okumanya “Yakuwa ky’ayagala.” Ekyo tusobola okukikola nga tusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku era nga tukifumiitirizaako. Gye tunaakoma okumanya Yakuwa ky’ayagala era n’okufuba okuba “n’endowooza ya Kristo,” gye tujja okukoma okutambula “ng’abalina amagezi,” wadde nga tetulina tteeka litulagira kya kukola mu mbeera ezimu. (1 Kol. 2:14-16) Oluusi kiba kyangu okulaba ebintu bye tulina okwewala, ate ebiseera ebimu tekiba kyangu.

10. Ebimu ku bintu bye tusaanidde okwewala bye biruwa?

10 Ebimu ku bintu bye tulina okwewala mwe muli okuzannyirira n’omuntu gwe tutafaanaganya naye kikula, okunywa ennyo omwenge, okulya ekisukkiridde, okwogera ebigambo ebirumya abalala, okulaba eby’okwesanyusaamu ebirimu ebikolwa eby’obukambwe oba eby’obuseegu, n’ebintu ebirala ebiringa ebyo. (Zab. 101:3) Omulabe waffe Sitaani buli kiseera anoonya akakisa k’anaakozesa okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. (1 Peet. 5:8) Bwe tuteegendereza, Sitaani ayinza okutuleetera okukwatirwa abalala obuggya, obutaba beesigwa, okuba ab’omululu, okuba n’obukyayi, okuba ab’amalala, n’okusibira abalala ekiruyi. (Bag. 5:19-21) Mu kusooka, ebintu ng’ebyo biyinza okulabika ng’ebitali bya bulabe. Naye bwe tutabaako kye tukolawo mu bwangu kubyeggyamu, biyinza okweyongera okukula mu mitima gyaffe, ne bituviirako okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa.​—Yak. 1:14, 15.

11. Kabi ki akayinza okujja mu ngeri enneekusifu ke tulina okwewala, era lwaki?

11 Ekimu ku bintu eby’obulabe ekiyinza obuteeyolekerawo, gye mikwano emibi. Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti waliwo omuntu atali Mukristaayo gw’okola naye ku mulimu buli lunaku. Oyagala okulaga mukozi munno oyo nti Abajulirwa ba Yakuwa bantu ba kisa era bayamba abalala. Oluusi n’oluusi oyinza okukkiriza okuliirako awamu naye eky’emisana. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, ekyo otandika okukikola buli lunaku. Obw’olumu omuntu oyo ayogera ku bintu eby’obugwenyufu, naye mu kusooka tebikuyisa bulungi era ofuba okwewala okumuddamu. Naye oluvannyuma lw’ekiseera, otandika okumanyiira ebigambo by’ayogera ne biba nga tebikyakuyisa bubi. Lumu mukozi munno oyo akusaba mugende munywereko wamu omwenge, era n’okkiriza. Oluvannyuma lw’ekiseera otandika okukiraba nti okkiriziganya naye kumpi ku buli kimu. Ogenda okulaba, ng’otandise okweyisiza ddala nga ye. Kyo kituufu nti twagala okuba ab’ekisa era n’okuwa abantu bonna ekitiibwa. Naye tulina okukijjukira nti emirundi mingi tweyisa ng’abo be tutera okubeera nabo. (1 Kol. 15:33) Bwe tufuba okwekuuma nga Yesu bwe yatukubiriza, tujja kwewala okukolagana n’abo abatassa kitiibwa mu mitindo gya Yakuwa. (2 Kol. 6:15) Tujja kulaba akabi era tukeewale.

KOZESA BULUNGI EBISEERA BYO

12. Kiki abayigirizwa ba Yesu kye baalina okukola, nga bwe balindirira amafundikira g’enteekateeka y’ebintu?

12 Abayigirizwa ba Yesu tebaalina kubeera awo bubeezi nga tebalina kye bakola, nga bwe balindirira enkomerero y’enteekateeka y’ebintu. Yesu yabawa omulimu ogw’okukola. Yabalagira okubuulira amawulire amalungi “mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.” (Bik. 1:6-8) Ogwo nga gwali mulimu munene nnyo! Baakozesa bulungi ebiseera byabwe nga bakola kyonna kye baali basobola okubuulira amawulire amalungi.

13. Lwaki kikulu okukozesa obulungi ebiseera byaffe? (Abakkolosaayi 4:5)

13 Soma Abakkolosaayi 4:5. Bwe tuba ab’okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, tulina n’okulowooza ku ngeri gye tukozesaamu ebiseera byaffe. “Ebintu ebitasuubirwa” biyinza okutuuka ku buli omu ku ffe. (Mub. 9:11) Tuyinza okufiirwa obulamu bwaffe ekiseera kyonna.

Tuyinza tutya okukozesa obulungi ebiseera byaffe? (Laba akatundu 14-15)

14-15. Tuyinza tutya okukozesa obulungi ebiseera byaffe? (Abebbulaniya 6:11, 12) (Laba n’ekifaananyi.)

14 Tusobola okukozesa obulungi ebiseera byaffe nga tufuba okuweereza Yakuwa n’okunyweza enkolagana yaffe naye. (Yok. 14:21) Kitwetaagisa ‘okunywera, nga tetusagaasagana, era nga bulijjo tuba n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.’ (1 Kol. 15:58) Awo enkomerero bw’enejja, k’ebe nkomerero ya bulamu bwaffe oba enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu, tetujja kwejjusa.​—Mat. 24:13; Bar. 14:8.

15 Leero, Yesu akyeyongera okuwa abayigirizwa be obulagirizi nga babuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna. Yesu atuukirizza kye yasuubiza. Okuyitira mu kibiina kya Yakuwa, Yesu atutendeka okubuulira amawulire amalungi era atuwa n’eby’okukozesa. (Mat. 28:18-20) Bwe tuba abanyiikivu mu kubuulira n’okuyigiriza, nga bwe tulindirira Yakuwa okuleeta enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu, tuba tukozesezza bulungi ebiseera byaffe. Bwe tukolera ku kubuulirira okuli mu Abebbulaniya 6:11, 12, tujja kuba n’essuubi ekkakafu “okutuukira ddala ku nkomerero.”​—Soma.

16. Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

16 Yakuwa yassaawo dda olunaku n’essaawa lw’ajja okuzikiriza enteekateeka ya Sitaani. Olunaku olwo bwe lunaatuuka, Yakuwa ajja kutuukiriza obunnabbi bwe yawandiisa mu Kigambo kye. Naye oluusi tuyinza okulowooza nti enkomerero eruddewo okutuuka. Kyokka, olunaku lwa Yakuwa ‘terujja kulwa!’ (Kaab. 2:3) N’olwekyo, ka ‘tweyongere okutunuulira Yakuwa’ era ‘n’okulindirira n’obugumiikiriza Katonda ow’obulokozi bwaffe.’​—Mi. 7:7.

OLUYIMBA 139 Weerabe nga Byonna Bizziddwa Buggya

a Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri gye tuyinza okusigala nga tutunula mu by’omwoyo era nga tuli bulindaala. Ate era tujja kulaba engeri gye tuyinza okwewalamu ebiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa, era n’engeri gye tuyinza okukozesa obulungi ebiseera byaffe.

b EKIFAANANYI: (Waggulu) Abafumbo nga balaba amawulire. Oluvannyuma lw’enkuŋŋaana, babuulira abalala bo kye balowooza ku ebyo baalabye mu mawulire. (Wansi) Abafumbo nga balaba lipoota okuva ku Kakiiko Akafuzi basobole okumanya okutegeera okupya okukwata ku bunnabbi bwa Bayibuli. Bawa omuntu akatabo akeesigamiziddwa ku Bayibuli, akaakubibwa omuddu omwesigwa.