EKITUNDU EKY’OKUSOMA 9
Siima Ekirabo eky’Obulamu Katonda Kye Yakuwa
“Ku bw’oyo tuli balamu, tutambula, era weetuli.”—BIK. 17:28.
OLUYIMBA 141 Obulamu Kyamagero
OMULAMWA a
1. Kiki ekiraga nti obulamu bwaffe bwa muwendo nnyo eri Yakuwa?
KUBA akafaananyi nga mukwano gwo akuwadde ekibumbe ekikadde ennyo, naye nga kya muwendo nnyo. Ekibumbe ekyo kiyinza okuba nga kyamogokako, era nga tekikyalabika bulungi nnyo. Wadde nga kiba tekirabika bulungi nnyo, kiba kya muwendo nnyo gy’oli. Awatali kubuusabuusa, ekibumbe ekyo oba okyagala nnyo era ofuba okukikuuma. Yakuwa yatuwa ekirabo eky’omuwendo ennyo, nga bwe bulamu bwaffe. Mu butuufu, Yakuwa okuwaayo Omwana we okutufiirira kiraga nti obulamu bwaffe abutwala nga bwa muwendo nnyo.—Yok. 3:16.
2. Nga bwe kiragibwa mu 2 Abakkolinso 7:1, kiki Yakuwa ky’ayagala tukole?
2 Yakuwa ye Nsibuko y’obulamu. (Zab. 36:9) Omutume Pawulo yagamba nti Yakuwa “y’awa abantu bonna obulamu, omukka gwe bassa, n’ebintu byonna.” (Bik. 17:25, 28) N’olwekyo, tuba batuufu okugamba nti obulamu kirabo okuva eri Katonda. Olw’okuba atwagala, atuwa bye twetaaga okusobola okusigala nga tuli balamu. (Bik. 14:15-17) Kyokka Yakuwa takuuma bulamu bwaffe mu ngeri ey’ekyamagero. Mu kifo ky’ekyo, ayagala tukole kyonna kye tusobola okusigala nga tuli balamu bulungi era n’okweyongera okumuweereza. (Soma 2 Abakkolinso 7:1.) Lwaki tusaanidde okufaayo ku bulamu bwaffe, era ekyo tuyinza kukikola tutya?
EKIRABO EKY’OBULAMU KITWALE NGA KYA MUWENDO
3. Emu ku nsonga lwaki tukola kyonna kye tusobola okusigala nga tuli balamu bulungi y’eruwa?
3 Twagala okuba abalamu obulungi kitusobozese okuweereza Yakuwa mu ngeri esingako obulungi. (Mak. 12:30) Twagala okuwaayo ‘emibiri gyaffe nga ssaddaaka ennamu, entukuvu, era esiimibwa Katonda.’ N’olwekyo, twewala okukola ebintu bye tumanyi nti biyinza okutuviirako okulwala. (Bar. 12:1) Kyo kituufu nti tewali kye tuyinza kukola okwewalira ddala okulwala. Naye tukola kyonna kye tusobola okusobola okusigala nga tuli balamu bulungi, kubanga twagala okulaga Kitaffe ow’omu ggulu nti tusiima ekirabo eky’obulamu kye yatuwa.
4. Kiki Kabaka Dawudi kye yali ayagala okweyongera okukola?
4 Kabaka Dawudi yalaga ensonga lwaki yali asiima ekirabo eky’obulamu, bwe yawandiika nti: “Kigasa ki bwe nfa, bwe nzika mu kinnya? Enfuufu eneekutendereza? Eneeyogera ku bwesigwa bwo?” (Zab. 30:9) Dawudi ayinza okuba nga yawandiika ebigambo ebyo ng’anaatera okufa. Naye yakola kyonna kye yali asobola okusigala nga mulamu, asobole okweyongera okutendereza Yakuwa. Awatali kubuusabuusa, naffe ekyo kye twagala.
5. Ne bwe tuba nga tukaddiye oba nga tuli balwadde, kiki kye tusobola okukola?
5 Okulwala n’okukaddiwa biyinza okutulemesa okukola ebintu bingi bye twakolanga. N’ekivaamu, tuyinza okwennyamira n’okuwulira nga tuweddemu amaanyi. Naye tetusaanidde kulekera awo kufaayo ku bulamu bwaffe. Lwaki? Kubanga ne bwe tuba nga tukaddiye oba nga tuli balwadde, tusobola okutendereza Yakuwa nga Kabaka Dawudi bwe yakola. Kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Katonda waffe atutwala nga tuli ba muwendo ne bwe tuba nga tukaddiye oba nga tuli balwadde! (Mat. 10:29-31) Ne bwe tufa, Yakuwa ajja kutuzuukiza. (Yob. 14:14, 15) Naye bwe tuba nga tukyali balamu, twagala okukola kyonna kye tusobola okukuuma obulamu bwaffe.
WEEWALE EBINTU EBITEEKA OBULAMU BWO MU KABI
6. Kiki Yakuwa ky’atusuubira okukola bwe kituuka ku kulya n’okunywa?
6 Wadde nga Bayibuli si kitabo kya bya bulamu era nga tewa kalonda w’ebintu bye tulina okulya ne bye tutalina kulya, eraga endowooza Yakuwa gy’alina ku nsonga eyo. Ng’ekyokulabirako, etukubiriza okuggya mu mibiri gyaffe “ebintu eby’akabi” ebiyinza okugyonoona. (Mub. 11:10) Okulya ekisukkiridde n’okunywa ennyo omwenge, byombi bya bulabe eri obulamu bwaffe era Bayibuli ebivumirira. (Nge. 23:20) Bwe kituuka ku kusalawo biki bye tunaalya oba bye tunaanywa, Yakuwa ayagala twegerere era twefuge.—1 Kol. 6:12; 9:25.
7. Ebigambo ebiri mu Engero 2:11 bituyamba bitya okusalawo obulungi ku bikwata ku bulamu bwaffe?
7 Tusobola okusalawo mu ngeri eraga nti tusiima ekirabo eky’obulamu Katonda kye yatuwa, nga tukozesa obusobozi bwaffe obw’okulowooza. (Zab. 119:99, 100; soma Engero 2:11.) Ng’ekyokulabirako, tulina okusalawo obulungi bwe kituuka ku by’okulya. Bwe tuba tulina ekika ky’emmere gye twagala ennyo naye nga bwe tugirya etulwaza, tujja kwewala okulya emmere eyo. Ate era tujja kukiraga nti tusiima ekirabo eky’obulamu nga twebaka ekimala, nga tukola dduyiro, nga tukuuma emibiri gyaffe nga miyonjo, era nga tuyonja we tubeera.
FUBA OKWEWALA OBUBENJE
8. Bayibuli eraga etya nti Yakuwa ayagala tukole kyonna ekisoboka okwewala obubenje?
8 Mu mateeka Katonda ge yawa eggwanga lya Isirayiri, mwalimu obulagirizi obwali bubayamba okwewala obubenje awaka oba ku mulimu. (Kuv. 21:28, 29; Ma. 22:8) N’omuntu eyattanga munne mu butanwa yabonerezebwanga. (Ma. 19:4, 5) Ate era n’abo abaatuusanga akabi ku bulamu bw’omwana atannazaalibwa nabo baabonerezebwanga. (Kuv. 21:22, 23) Ebyawandiikibwa bikiraga lwatu nti Yakuwa ayagala tukole kyonna ekisoboka okwewala obubenje.
9. Biki bye tuyinza okukola okusobola okwewala obubenje? (Laba n’ebifaananyi.)
9 Tukiraga nti tusiima ekirabo eky’obulamu Katonda kye yatuwa, nga tufuba okwewala ebintu ebiyinza okussa obulamu bwaffe mu kabi awaka oba ku mulimu. Ng’ekyokulabirako, ebintu ebyogi, ebintu eby’obutwa, oba eddagala, tetubisuula oba tetubiteeka we bisobola okukoseza obulamu bw’abalala oba abaana abato we basobola okutuuka. Bwe tuba tukumye omuliro, nga tufumba, oba nga tulina ekyuma kye tukozesa, twewala okubireka awo ne tukola ebintu ebirala. Ate era tetuvuga kidduka nga tulina eddagala ery’amaanyi lye tukozesa, nga tunywedde omwenge, oba nga tetwawummudde kimala. Ate era bwe tuba tuvuga ekidduka, twewalira ddala okukozesa essimu kubanga eyinza okutuwugula.
BWE WAGWAWO EKIZIBU
10. Kiki kye tusaanidde okukola ng’ekizibu tekinnagwawo era ne bwe kiba nga kiguddewo?
10 Oluusi tetusobola kuziyiza bizibu by’amaanyi kututuukako. Ebizibu ebyo bizingiramu obutyabaga, endwadde, n’obutabanguko. Kyokka ebizibu ng’ebyo bwe bigwawo, tusobola obutakosebwa singa tugoberera obulagirizi ab’obuyinza bwe baba batuwadde, gamba ng’obutava waka, okuva mu kitundu amangu ddala, n’obulagirizi obulala. (Bar. 13:1, 5-7) Ebizibu ebirala biyinza okuba nga bisuubirwa okubaawo. N’olwekyo, tusaanidde okugoberera obulagirizi bwonna obuba butuweereddwa ab’obuyinza, ne kituyamba okweteekerateekera ekizibu ekyo. Ng’ekyokulabirako, kiyinza okuba eky’omuganyulo okutereka amazzi n’emmere etayonooneka mangu awamu n’eby’okukozesa mu bujjanjabi obusookerwako.
11. Bwe wabalukawo ekirwadde, kiki kye tusaanidde okukola?
11 Kiki kye tusaanidde okukola singa mu kitundu we tubeera wabalukawo ekirwadde ekisaasaana amangu? Tusaanidde okugoberera obulagirizi, gamba ng’obwo obukwata ku kunaaba mu ngalo, okwewa amabanga, okwambala masiki, n’okweyawula ku balala. Bwe tukola ebintu ebyo, kiraga nti tusiima ekirabo eky’obulamu Katonda kye yatuwa.
12. Okukolera ku musingi oguli mu Engero 14:15 kituyamba kitya nga waguddewo akatyabaga?
12 Bwe wagwawo ekizibu, oluusi tuwulira ebintu ebyogerwa mikwano gyaffe, baliraanwa baffe, n’ebisaasaanyizibwa ku mikutu gy’empuliziganya, naye ng’ebintu ebyo si bituufu. Mu kifo ky’okuwuliriza ‘buli kye batugamba,’ tusaanidde okuwuliriza ebyo ebyesigika okuva mu b’obuyinza ne mu basawo. (Soma Engero 14:15.) Ab’oluganda abali ku Kakiiko Akafuzi ne ku ofiisi z’amatabi bafuba okufuna obubaka obwesigika nga tebannatuwa bulagirizi bukwata ku nkuŋŋaana z’ekibiina ne ku mulimu gw’okubuulira. (Beb. 13:17) Bwe tugoberera obulagirizi bwe baba batuwadde, kitusobozesa okutaasa obulamu bwaffe n’obw’abalala. Ate era kiyinza okuleetera ekibiina kyaffe okwogerwako obulungi mu kitundu mwe tubeera.—1 Peet. 2:12.
WEEWALE OMUSAAYI
13. Tukiraga tutya nti tusiima ekirabo eky’obulamu Katonda kye yatuwa, bwe kituuka ku nsonga ekwata ku musaayi?
13 Abantu bangi bakimanyi nti Abajulirwa ba Yakuwa omusaayi bagutwala nga mutukuvu. Tugondera etteeka lya Yakuwa erikwata ku musaayi nga tugaana okuteekebwako omusaayi ne bwe kiba nti obulamu bwaffe buli mu kabi. (Bik. 15:28, 29) Kyokka ekyo tekitegeeza nti tuba twagala kufa. Mu kifo ky’ekyo, tusiima nnyo ekirabo eky’obulamu Katonda kye yatuwa. Tukkiriza obujjanjabi okuva eri abasawo abakkiriza okutujjanjaba nga tebatutaddeeko musaayi.
14. Tuyinza tutya okwewala ebizibu ebiyinza okutwetaagisa okufuna obujjanjabi obw’amaanyi?
14 Bwe tufaayo ku bulamu bwaffe nga tugoberera amagezi agatuweereddwa mu kitundu kino, tuyinza okwewala embeera eyinza okutwetaagisa okufuna obujjanjabi obw’amaanyi. Bwe tuba nga tufaayo ku bulamu bwaffe, emibiri gyaffe giwona mangu ne bwe tuba nga tulongooseddwa. Ate era tuyinza okwewala embeera eyinza okutwetaagisa okuddusibwa amangu mu ddwaliro, singa twewala ebiyinza okutuviirako okufuna akabenje awaka oba ku mulimu, era singa tugoberera amateeka g’ebidduka ku nguudo.
15. (a) Lwaki kikulu okujjuzaamu kaadi y’omusaayi era n’okutambulanga nayo? (Laba n’ekifaananyi.) (b) Nga bwe kiragibwa mu vidiyo, tuyinza tutya okusalawo obulungi ku bujjanjabi obuzingiramu okukozesa omusaayi?
15 Olw’okuba tusiima ekirabo eky’obulamu, tujja kujjuzaamu kaadi y’omusaayi eyitibwa durable power of attorney (DPA), era tutambule nayo buli kiseera. Bwe tujjuzaamu kaadi eyo, tulaga ennyimirira yaffe ku kuteekebwako omusaayi era ne ku bujjanjabi obulala. Ebiri ku kaadi yo ey’omusaayi biraga ennyimirira yo mu kiseera kino? Bw’oba nga tonnajjuzaamu kaadi eyo oba nga weetaaga okuddamu okugijjuzaamu, tolonzalonza. Obujjanjabi bwe tuba tusazeewo bwe tubuteeka mu buwandiike, kijja kutuyamba obutalwawo kufuna bujjanjabi bwe twetaaga. Ate era kijja kuyamba abasawo obutatuwa bujjanjabi obuyinza okuba obw’obulabe gye tuli. b
16. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba nga tetumanyi ngeri ya kujjuzaamu kaadi y’omusaayi?
16 Ka tube nga tuli bato, nga tuli bakulu, oba nga tuli balamu bulungi, ffenna tusobola okulwala oba okufuna akabenje. (Mub. 9:11) N’olwekyo kiba kya magezi okujjuzaamu kaadi y’omusaayi. Bw’oba nga tomanyi ngeri ya kujjuzaamu kaadi eyo, saba abakadde b’omu kibiina kyo bakuyambe. Bajja kukuyamba okumanya engeri y’okujjuzaamu kaadi eyo, naye tebajja kukusalirawo ku bikwata ku by’obujjanjabi. Obwo buvunaanyizibwa bwo. (Bag. 6:4, 5) Basobola okukuyamba okumanya ebyo by’oyagala okusalawo era n’okubiteeka mu buwandiike.
TOBA MUKAKANYAVU
17. Tuyinza tutya okulaga nti tetuli bakakanyavu ku bikwata ku by’obulamu?
17 Ebyo bye tusalawo ku bikwata ku bulamu bwaffe ne ku by’obujjanjabi, tubisalawo nga tusinziira ku muntu waffe ow’omunda atendekeddwa Bayibuli. (Bik. 24:16; 1 Tim. 3:9) Bwe tuba tusalawo oba nga twogerako n’abalala ku ekyo kye tuba tusazeewo, tusaanidde okukolera ku musingi oguli mu Abafiripi 4:5, awagamba nti: “Obutali bukakanyavu bwammwe bweyoleke eri abantu bonna.” Bwe tutaba bakakanyavu, tetujja kweraliikirira nnyo ebikwata ku bulamu bwaffe era tetujja kuwaliriza balala kusalawo nga ffe bwe tusazeewo. Twagala nnyo baganda baffe ne bannyinaffe era tubassaamu ekitiibwa ne bwe kiba nti ekyo kye basazeewo kyawukana ku kyaffe.—Bar. 14:10-12.
18. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekirabo eky’obulamu?
18 Tukiraga nti tusiima Yakuwa olw’okutuwa obulamu nga tukola kyonna kye tusobola okukuuma obulamu bwaffe, era nga tumuweereza n’omutima gwaffe gwonna. (Kub. 4:11) Mu kiseera kino tulwala era tufuna ebizibu eby’amaanyi. Naye obwo si bwe bulamu Omutonzi waffe bwe yali atwagaliza. Mu kiseera ekitali kya wala, ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo obutajja kubaamu bulumi wadde okufa. (Kub. 21:4) Naye ne mu kiseera kino, kirungi nnyo okuba abalamu n’okuweereza Yakuwa Katonda waffe atwagala ennyo!
OLUYIMBA 140 Obulamu Obutaggwaawo Butuuse!
a Ekitundu kino kigenda kutuyamba okweyongera okusiima ekirabo eky’obulamu Katonda kye yatuwa. Tugenda kulaba bye tuyinza okukola okusobola okusigala nga tuli balamu bulungi, okukuuma obulamu bwaffe nga waguddewo akatyabaga, era n’okwewala ebiyinza okutuviirako okufuna akabenje. Ate era tujja kulaba kye tuyinza okukola okusobola okweteekerateekera embeera eziyinza okutwetaagisa okufuna obujjanjabi obw’amangu.
b Laba vidiyo eri ku jw.org/lg erina omutwe, Okusalawo Obulungi ku Bujjanjabi Obuzingiramu Okukozesa Omusaayi.
c EKIFAANANYI: Ow’oluganda omuvubuka ajjuzaamu kaadi ye ey’omusaayi, era akakasa nti abeera nayo ekiseera kyonna.