Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Buulira Amawulire Amalungi Agakwata ku Kisa eky’Ensusso

Buulira Amawulire Amalungi Agakwata ku Kisa eky’Ensusso

‘Wa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi agakwata ku kisa kya Katonda eky’ensusso.’​—BIK. 20:24.

ENNYIMBA: 101, 84

1, 2. Omutume Pawulo yakiraga atya nti yali asiima Katonda olw’ekisa eky’ensusso kye yamulaga?

OMUTUME Pawulo yagamba nti: “Ekisa eky’ensusso [Katonda] kye yandaga tekyafa bwereere.” (Soma 1 Abakkolinso 15:9, 10.) Okuva bwe kiri nti Pawulo yayigganya nnyo Abakristaayo bwe yali nga tannafuuka Mukristaayo, yali akimanyi bulungi nti ekisa Katonda kye yamulaga yali takikoleredde era nti yali tagwana kukiragibwa.

2 Bwe yali anaatera okufa, Pawulo yagamba mukozi munne Timoseewo nti: “Nneebaza Kristo Yesu Mukama waffe eyampa amaanyi, kubanga yantwala okuba omwesigwa n’ankwasa obuweereza.” (1 Tim. 1:12-14) Buweereza ki obwo obwamukwasibwa? Pawulo yabuulira abakadde b’omu kibiina ky’e Efeso ebyali bizingirwa mu buweereza obwo. Yabagamba nti: “Obulamu bwange sibutwala nga bwa muwendo gye ndi, kasita mmaliriza olugendo lwange n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi agakwata ku kisa kya Katonda eky’ensusso.”​Bik. 20:24.

3. Buweereza ki obw’enjawulo Pawulo bwe yakwasibwa? (Laba ekifaananyi ku lupapula 26.)

3 ‘Mawulire ki amalungi’ agooleka ekisa kya Yakuwa eky’ensusso Pawulo ge yabuulira? Yagamba Abakristaayo b’omu Efeso nti: “Muwulidde ebikwata ku buwanika obw’ekisa kya Katonda eky’ensusso obwampeebwa ku lwammwe.” (Bef. 3:1, 2) Pawulo yakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okubuulira amawulire amalungi eri abantu abataali Bayudaaya nabo basobole okuba abamu ku abo abandifugidde awamu ne Kristo mu Bwakabaka bwa Katonda. (Soma Abeefeso 3:5-8.) Pawulo yakola omulimu ogwo n’obunyiikivu era yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Yakiraga nti ekisa eky’ensusso Katonda kye yamulaga “tekyafa bwereere.”

EKISA KYA KATONDA EKY’ENSUSSO KIKUKUBIRIZA OKUBA OMUNYIIKIVU?

4, 5. Lwaki ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka’ era gayitibwa ‘amawulire amalungi agakwata ku kisa kya Katonda eky’ensusso’?

4 Mu nnaku zino ez’enkomerero, abaweereza ba Yakuwa bakwasiddwa omulimu ogw’okubuulira ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna.’ (Mat. 24:14) Obubaka bwe tubuulira era buyitibwa ‘amawulire amalungi agakwata ku kisa kya Katonda eky’ensusso’ kubanga emikisa gyonna gye tusuubira okufuna mu Bwakabaka bwa Katonda tujja kugifuna olw’ekisa Yakuwa kye yatulaga okuyitira mu Kristo. (Bef. 1:3) Okufaananako Pawulo, naffe tukiraga nti tusiima ekisa kya Katonda eky’ensusso nga tubuulira n’obunyiikivu?​—Soma Abaruumi 1:14-16.

5 Mu kitundu ekyaggwa twalaba emiganyulo egitali gimu ffe abantu abatatuukiridde gye tufuna olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso. N’olwekyo tulina obuvunaanyizibwa obw’okuyamba abantu abalala okumanya engeri Yakuwa gy’ayolekamu okwagala eri abantu n’engeri gye basobola okukuganyulwamu. Ebimu ku bintu ebyoleka ekisa kya Katonda eky’ensusso bye tusaanidde okubuulira abantu bye biruwa?

BUULIRA AMAWULIRE AMALUNGI AGAKWATA KU KINUNULO

6, 7. Lwaki bwe tubuulira abalala ebikwata ku kinunulo, tuba tubuulira amawulire amalungi agakwata ku kisa kya Katonda eky’ensusso?

6 Mu nsi eno embi abantu bangi bakola ebintu ebibi naye omutima gwabwe tegubalumiriza era tebalaba na bwetaavu bwa kinunulo. Wadde kiri kityo, abantu bangi bakiraba nti abantu okumala geeyisa nga bwe baagala tekibaleetera ssanyu lya nnamaddala. Abantu abasinga obungi Abajulirwa ba Yakuwa bamala kwogera nabo ne balyoka bategeera ekibi kye ki, engeri gye kikwata ku bantu, n’ekyo kye tulina okukola okusobola okuggibwa mu buddu bw’ekibi. Abantu ab’emitima emirungi kibasanyusa nnyo okukimanya nti olw’ekisa kye eky’ensusso, Yakuwa yasindika Omwana we ku nsi okutufiiririra tusobole okununulwa okuva mu kibi n’okufa.​—1 Yok. 4:9, 10.

7 Ng’ayogera ku Mwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka, Pawulo yagamba nti: “Oluvannyuma lw’okusasula ekinunulo, Omwana we yatununula okuyitira mu musaayi gwe era tusonyiyiddwa ebyonoono byaffe okusinziira ku kisa kya Katonda eky’ensusso.” (Bef. 1:7) Ekinunulo bwe bukakafu obusingayo okulaga nti Katonda atwagala nnyo era kye kintu ekisingayo okwoleka ekisa kya Katonda eky’ensusso. Nga kitusanyusa nnyo okukimanya nti bwe tukkiririza mu musaayi gwa Yesu ogwayiibwa, ebibi byaffe bisonyiyibwa era tufuna omuntu ow’omunda omuyonjo! (Beb. 9:14) Ago nga mawulire malungi ge tusaanidde okubuulirako abalala!

YAMBA ABANTU OKUFUNA ENKOLAGANA ENNUNGI NE KATONDA

8. Lwaki abantu abatatuukiridde beetaaga okutabaganyizibwa ne Katonda?

8 Tulina obuvunaanyizibwa obw’okuyamba abantu okukimanya nti basobola okufuna enkolagana ey’oku lusegere n’Omutonzi waabwe. Omuntu bw’aba tannakkiririza mu kinunulo kya Yesu, aba mulabe wa Katonda. Omutume Yokaana yawandiika nti: “Oyo akkiririza mu Mwana alina obulamu obutaggwaawo; oyo ajeemera Omwana talifuna bulamu, wabula Katonda alimwolekeza obusungu bwe.” (Yok. 3:36) Naye ssaddaaka ya Yesu esobozesa abantu okutabagana ne Katonda. Pawulo yagamba nti: “Edda mwali mweyawudde era nga muli balabe kubanga ebirowoozo byammwe byali ku bikolwa ebibi, naye kaakano azzeemu okutabagana nammwe okuyitira mu mubiri gw’oyo eyeewaayo n’afa.”​—Bak. 1:21, 22.

9, 10. (a) Buvunaanyizibwa ki Yesu bwe yakwasa baganda be abaafukibwako amafuta? (b) ‘Ab’endiga’ endala bayamba batya abaafukibwako amafuta?

9 Kristo yakwasa baganda be abaafukibwako amafuta “obuweereza obw’okutabaganya.” Ng’ayogera ku buweereza obwo, Pawulo yagamba Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka nti: “Ebintu byonna biva eri Katonda, eyatuleetera okutabagana naye ng’ayitira mu Kristo, n’atuwa obuweereza obw’okutabaganya, kwe kugamba, nti okuyitira mu Kristo, Katonda yaleetera abantu okutabagana naye, nga tabavunaana byonoono byabwe, era n’atukwasa ekigambo eky’okutabagana. N’olwekyo, tuli babaka mu kifo kya Kristo, nga Katonda alinga abeegayirira okuyitira mu ffe. Ffe ng’ababaka abali mu kifo kya Kristo tubeegayirira nti: ‘Mutabagane ne Katonda.’ ”​—2 Kol. 5:18-20.

10 ‘Ab’endiga endala’ bagitwala nga nkizo ya maanyi okuyambako abaafukibwako amafuta okutuukiriza obuweereza obwo. (Yok. 10:16) Ab’endiga endala bakola kinene nnyo mu kuyigiriza abantu amazima agali mu Bayibuli n’okubayamba okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa. Kino kye kimu ku bintu ebikulu ebikolebwa mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku kisa kya Katonda eky’ensusso.

BUULIRA ABANTU NTI KATONDA AWULIRA OKUSABA

11, 12. Lwaki okuyigiriza abantu engeri gye basaanidde okusabamu Yakuwa mawulire malungi?

11 Abantu abasinga obungi basaba olw’okuba ekyo kibaleetera okuwulira obulungi, naye nga tebakkiriza nti Katonda awulira okusaba kwabwe. Beetaaga okukimanya nti Yakuwa “awulira okusaba.” Omuwandiisi wa Zabbuli, Dawudi, yawandiika nti: “Ai ggwe awulira okusaba, abantu aba buli kika banajjanga gy’oli. Ensobi zange zimpitiriddeko, naye ggwe obikka ku kwonoona kwaffe.”​—Zab. 65:2, 3.

12 Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Bwe munaasabanga ekintu kyonna mu linnya lyange, nja kukikola.” (Yok. 14:14) Kya lwatu nti wano Yesu yali ayogera ku bintu ebituukagana n’ebyo Yakuwa by’ayagala. Yokaana yagamba nti: “Buno bwe bwesige bwe tulina mu ye, nti bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.” (1 Yok. 5:14) Nga nkizo ya kitalo okuyamba abantu okukitegeera nti okusaba si kintu ekireetera obuleetezi omuntu okuwulira obulungi wabula nti kutuyamba ‘okusemberera entebe ya Yakuwa ey’ekisa eky’ensusso’! (Beb. 4:16) Bwe tuyamba abantu okumanya engeri entuufu gye balina okusabamu, okumanya gwe balina okusaba, n’okumanya biki bye balina okusaba, tusobola okubayamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa n’okubudaabudibwa nga boolekagana n’ebizibu.​—Zab. 4:1; 145:18.

EKISA EKY’ENSUSSO MU NSI EMPYA

13, 14. (a) Nkizo ki ey’ekitalo abaafukibwako amafuta gye bajja okufuna mu biseera eby’omu maaso? (b) Kiki abaafukibwako amafuta kye bajja okukolera abantu?

13 Yakuwa ajja kweyongera okwoleka ekisa kye eky’ensusso ne mu nsi empya. Ng’ayogera ku nkizo ey’ekitalo abaafukibwako amafuta 144,000, abagenda okufugira awamu ne Yesu mu Bwakabaka obw’omu ggulu gye balina, Pawulo yawandiika nti: “Katonda ow’okusaasira okungi, olw’okwagala kwe okungi kwe yatulaga, yatufuula balamu awamu ne Kristo, wadde nga twali bafu olw’ebyonoono byaffe​—mulokoleddwa olw’ekisa kye eky’ensusso. Ate era yatuzuukiriza wamu era n’atutuuza wamu mu bifo eby’omu ggulu nga tuli bumu ne Kristo Yesu, kibe nti mu nteekateeka y’ebintu egenda okujja, alaga obugagga obungi ennyo obw’ekisa kye eky’ensusso, okuyitira mu bulungi bwe yatulaga ffe abali obumu ne Kristo Yesu.”​—Bef. 2:4-7.

14 Si kyangu kuteebereza mikisa egy’ekitalo Yakuwa gy’ategekedde Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe banaaba bafugira wamu ne Yesu mu ggulu. (Luk. 22:28-30; Baf. 3:20, 21; 1 Yok. 3:2) Abakristaayo abo Yakuwa ajja kubalaga “obugagga obungi ennyo obw’ekisa kye eky’ensusso,” mu ngeri ey’enjawulo. Be bajja okuba “Yerusaalemi Ekiggya,” omugole wa Kristo. (Kub. 3:12; 17:14; 21:2, 9, 10) Bajja kukolera wamu ne Yesu mu ‘kuwonya amawanga,’ bayambe abantu okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa basobole okufuuka abatuukiridde.​—Soma Okubikkulirwa 22:1, 2, 17.

15, 16. Yakuwa anaayoleka atya ekisa kye eky’ensusso eri ‘ab’endiga endala’ mu biseera eby’omu maaso?

15 Abeefeso 2:7, walaga nti Katonda ajja kwoleka ekisa kye eky’ensusso ne “mu nteekateeka y’ebintu egenda okujja.” Mu kiseera ekyo, abantu bonna abanaaba mu nsi bajja kuganyulwa mu ‘bugagga obungi ennyo obw’ekisa kya Katonda eky’ensusso.’ (Luk. 18:29, 30) Ekimu ku bintu ebijja okusinga okwoleka ekisa kya Yakuwa eky’ensusso kwe kuzuukizibwa kw’abantu abaafa. (Yob. 14:13-15; Yok. 5:28, 29) Abaweereza ba Yakuwa abeesigwa abaaliwo nga ne ssaddaaka ya Yesu tennaba kuweebwayo, awamu ‘n’ab’endiga endala’ abafudde mu nnaku zino ez’enkomerero, bajja kuzuukizibwa beeyongere okuweereza Yakuwa.

16 Obukadde n’obukadde bw’abantu abaafa nga tebayize bikwata ku Katonda, nabo bajja kuzuukizibwa. Bajja kuweebwa akakisa okukkiriza obufuzi bwa Yakuwa. Yokaana yagamba nti: “Ne ndaba abafu, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa, nga bayimiridde mu maaso g’entebe y’obwakabaka, emizingo ne gyanjuluzibwa. N’omuzingo omulala ne gwanjuluzibwa; gwe muzingo ogw’obulamu. Abafu ne balamulwa okusinziira ku ebyo ebyawandiikibwa mu mizingo ng’ebikolwa byabwe bwe byali. Ennyanja n’ereeta abafu abagirimu, n’okufa n’amagombe ne bireeta abafu ababirimu, ne balamulwa kinnoomu okusinziira ku bikolwa byabwe.” (Kub. 20:12, 13) Abo abanaazuukizibwa kijja kubeetaagisa okuyiga okukolera ku misingi gya Katonda egiri mu Bayibuli. Ate era kijja kubeetaagisa okukolera ku bulagirizi obupya obujja okubeera “mu mizingo” eginaabaamu ebintu Yakuwa by’ajja okwetaagisa abantu abanaabeera mu nsi empya. Obulagirizi obwo obupya obunaabeera mu mizingo egyo, nabwo bujja kweyongera okwoleka ekisa kya Yakuwa eky’ensusso.

WEEYONGERE OKUBUULIRA AMAWULIRE AMALUNGI

17. Kiki kye tusaanidde okukuumira mu birowoozo nga tubuulira?

17 Kikulu nnyo leero okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka kubanga enkomerero esembedde! (Mak. 13:10) Tewali kubuusabuusa nti amawulire amalungi ge tubuulira gooleka ekisa kya Yakuwa eky’ensusso. Ekyo tusaanidde okukikuumira mu birowoozo nga twenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Bwe tuba tubuulira twagala okuweesa Yakuwa ekitiibwa. Ekyo tusobola okukikola nga tuyamba abantu okukitegeera nti ebintu byonna ebirungi Yakuwa by’atusuubizza okutukolera mu nsi empya byoleka ekisa kye eky’ensusso.

Weereza n’obunyiikivu “ng’omuwanika omulungi ow’ekisa kya Katonda eky’ensusso.”​—1 Peet. 4:10 (Laba akatundu 17-19)

18, 19. Tuyinza tutya okuyamba abantu okumanya ebikwata ku kisa kya Katonda eky’ensusso?

18 Bwe tuba tubuulira tusaanidde okuyamba abantu okukimanya nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaaba butandise okufuga ku nsi abantu bajja kufuuka abatuukiridde okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu. Bayibuli egamba nti: “[Ebitonde] bijja kusumululwa okuva mu buddu bw’okuvunda bifune eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.” (Bar. 8:21) Ekyo kijja kusoboka olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso.

19 Tulina enkizo okubuulira abantu bonna ebisuubizo bya Katonda ebiri mu Okubikkulirwa 21:4, 5, awagamba nti: “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.” Era Yakuwa oyo atudde ku ntebe agamba nti: “Laba! ebintu byonna mbizza buggya.” Era agattako nti: “Wandiika, kubanga ebigambo bino byesigika era bya mazima.” Bwe tubuulira n’obunyiikivu amawulire ago amalungi, tuyamba abantu okumanya ebikwata ku kisa kya Yakuwa eky’ensusso!