Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amaaso Go Gakuumire ku Nsonga Enkulu

Amaaso Go Gakuumire ku Nsonga Enkulu

“Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.”ZAB. 83:18.

ENNYIMBA: 46, 136

1, 2. (a) Nsonga ki enkulu ennyo ekwata ku bantu bonna? (b) Era lwaki kikulu nnyo okuwagira obufuzi bwa Yakuwa?

LEERO abantu abasinga obungi ssente ze batwala ng’ekintu ekisinga obukulu. Beemalidde ku kunoonya bya bugagga oba okubikuuma. Abalala kye batwala ng’ekisinga obukulu ge maka gaabwe, eby’obulamu, oba ebyo bye baba batuuseeko mu bulamu.

2 Naye waliwo ekintu ekisinga ebyo byonna obukulu, nga kuno kwe kulaga nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutuleetera kwerabira nsonga eyo. Bwe tuba nga tetwegenderezza, tuyinza okwemalira ku bintu ebya bulijjo ne twerabira ensonga eyo enkulu ennyo. Oba tuyinza okukkiriza ebizibu bye tufuna mu bulamu okutuleetera okuggya ebirowoozo ku nsonga eyo enkulu ennyo. Ate ku luuyi olulala, bwe tuba nga tukitwala nga kikulu nnyo okuwagira obufuzi bwa Yakuwa, kijja kutuyamba okwaŋŋanga embeera enzibu ze twolekagana nazo buli lunaku. Ate era kijja kutuyamba okweyongera okusemberera Yakuwa.

LWAKI ENSONGA EYO NKULU NNYO?

3. Kubuusabuusa ki Sitaani kwe yaleetawo okukwata ku bufuzi bwa Yakuwa?

3 Sitaani yaleetawo okubuusabuusa obanga Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Sitaani ayagala abantu balowooze nti Yakuwa mufuzi mubi era nti tabaagaliza birungi. Sitaani yagamba nti singa abantu beefuga bokka, bandibadde basanyufu nnyo. (Lub. 3:1-5) Ate era agamba nti tewali muntu mwesigwa eri Katonda, era nti singa wabaawo embeera enzibu ennyo tewali muntu n’omu asobola kusigala ng’anyweredde ku bufuzi bwa Yakuwa. (Yob. 2:4, 5) N’olwekyo, Katonda alese ekiseera okuyitawo kyeyoleke kaati nti abantu bwe batafugibwa Katonda tebasobola kuba basanyufu.

4. Lwaki ensonga ekwata ku ani agwanidde okufuga erina okugonjoolwa obulungi?

4 Yakuwa Katonda akimanyi nti ebyo Sitaani bye yayogera bya bulimba. Kati olwo lwaki awadde Sitaani ekiseera kiwanvu okukakasa obanga ebyo bye yayogera bituufu? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kikwata ku bitonde byonna ebitegeera ebiri mu ggulu ne ku nsi. (Soma Zabbuli 83:18.) Abantu abaasooka baagaana obufuzi bwa Yakuwa, era okuva olwo wabaddewo n’abantu abalala bangi abagaanye Yakuwa okuba omufuzi waabwe. Ekyo kiyinza okuleetera abantu abamu okulowooza nti oboolyawo ebyo Sitaani bye yayogera byali bituufu. Singa wabaawo abantu oba bamalayika abasigalamu akakunkuna konna ku nsonga eno, tewasobola kubaawo bumu na mirembe. Naye bwe kinaamala okweyoleka kaati nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna, buli omu ajja kugondera obufuzi bwe emirembe gyonna. Wajja kubaawo emirembe mu butonde bwonna.Bef. 1:9, 10.

5. Ensonga ekwata ku kuwagira obufuzi bwa Yakuwa etukwatako etya?

5 Tewali kubuusabuusa nti kijja kweyoleka kaati nti Katonda y’agwanidde okufuga obutonde bwonna, era obufuzi bwa Sitaani n’abantu bujja kulemererwa buggibwewo. Obufuzi bwa Yakuwa bujja kuwangula, era abantu abeesigwa bajja kuwa obukakafu obw’enkukunala nti abantu obuntu basobola okunywerera ku bufuzi bwa Katonda. (Is. 45:23, 24) Naawe wandyagadde okubeera mu bantu abo abeesigwa abeeyongera okuwagira obufuzi bwa Katonda? Bwe kiba kityo, olina okukuumira amaaso go ku nsonga enkulu era olina okutegeera lwaki ensonga eyo nkulu nnyo.

ENSONGA ENKULU OKUSINGA OKULOKOLEBWA KWAFFE

6. Okulaga nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna kikulu kwenkana wa?

6 Nga bwe tulabye waggulu, okulaga nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna kintu kikulu nnyo. Kikulu nnyo n’okusinga ekintu ekirala kyonna ekisobola okutuleetera essanyu. Ekyo kiraga nti okulokolebwa kwaffe si kukulu oba nti Yakuwa afa ku bibye, ffe tatufaako? Nedda. Lwaki?

7, 8. Okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bya Yakuwa kulina kakwate ki n’okulaga nti y’agwanidde okufuga?

7 Yakuwa ayagala nnyo abantu era abatwala nga ba muwendo. Yatuuka n’okuwaayo Omwana we okufiirira abantu basobole okulokolebwa. (Yok. 3:16; 1 Yok. 4:9) Singa Yakuwa tatuukiriza bisuubizo bye, Sitaani aba afunye kw’asinziira okugamba nti Yakuwa mulimba, amma ebirungi abo b’afuga, era nti afuga mu ngeri etali nnungi. Era kyandireetedde ebigambo by’abasekerezi bino okuba ebituufu: “Okubeerawo kwe okwasuubizibwa kuliwa? Laba, kasookedde bajjajjaffe bafa, ebintu byonna biri ddala nga bwe bibadde okuviira ddala ku ntandikwa y’okutonda.” (2 Peet. 3:3, 4) N’olwekyo, okusobola okukakasa nti y’agwanidde okufuga, Yakuwa ajja kutuukiriza ekisuubizo kye eky’okulokola abantu! (Soma Isaaya 55:10, 11.) Ate era Yakuwa ye Katonda ow’okwagala. N’olwekyo, tuli bakakafu nti ajja kweyongera okwagala abaweereza be n’okubatwala nga ba muwendo.Kuv. 34:6.

8 Bwe tukulembeza obufuzi bwa Yakuwa mu bulamu bwaffe, kiba tekiraga nti obulokozi bwaffe tetubutwala ng’ekikulu oba nti twetwala ng’abatali ba muwendo mu maaso ga Yakuwa. Tuba tukulembeza ekyo ekisinga obukulu. Bwe tuba ab’okunywerera ku bufuzi bwa Yakuwa, tulina okukijjukiranga nti okuwagira obufuzi bwe kye kintu ekisingayo obukulu.

YOBU YAKYUSA ENDOWOOZA YE

9. Kiki Sitaani kye yayogera ku Yobu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 22.)

9 Ebyo bye tusoma mu kitabo kya Yobu biraga ensonga lwaki kikulu okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku bufuzi bwa Yakuwa. Mu kitabo ekyo tusoma nti Sitaani yagamba Katonda nti singa Yobu ayita mu kubonaabona okw’amaanyi, yandyegaanye Katonda. Sitaani yali ayagala Katonda aleetere Yobu ebizibu, naye ekyo Katonda teyakikola. Kyokka Katonda yaleka Sitaani okugezesa Yobu, n’amugamba nti: “Byonna by’alina biri mu mukono gwo.” (Soma Yobu 1:7-12.) Mu kaseera katono, Yobu yafiirwa abaweereza be, eby’obugagga bye, n’abaana be ekkumi. Ebizibu ebyo Sitaani yabireeta mu ngeri eyali ng’eraga nti Katonda ye yali abireetera Yobu. (Yob. 1:13-19) Oluvannyuma Sitaani yaleetera Yobu obulwadde obw’amaanyi ennyo. (Yob. 2:7) Ate era Yobu yeeyongera okugezesebwa, mukyala we awamu n’abasajja abasatu abeefuula mikwano gye bwe baayogera ebigambo ebimalamu amaanyi.Yob. 2:9; 3:11; 16:2.

10. (a) Kiki ekiraga nti Yobu yali mwesigwa eri Katonda? (b) Nsobi ki Yobu gye yakola?

10 Ebyo Sitaani bye yayogera ku Yobu byali bituufu? Nedda, kubanga wadde nga Yobu yabonaabona nnyo, teyava ku Katonda. (Yob. 27:5) Wadde kyali kityo, okumala akaseera, Yobu yalina endowooza etaali nnuŋŋamu. Essira yalissa nnyo ku kukakasa nti yali mutuukirivu, n’atuuka n’okusaba ategeezebwe ensonga lwaki yali abonaabona. (Yob. 7:20; 13:24) Ekyo Yobu kye yakola tuyinza okukiraba ng’ekitaalimu buzibu bwonna, naye Katonda yakiraba nti Yobu yali yeetaaga okutereezebwa. Kiki Yakuwa kye yagamba Yobu?

11, 12. Kiki Yakuwa kye yayamba Yobu okumanya, era Yobu yakola ki?

11 Ebigambo Katonda bye yagamba Yobu bisangibwa mu Yobu essuula 38 okutuuka ku ssuula 41. Kyokka mu bigambo ebyo Katonda talina w’abuulirira Yobu nsonga lwaki yali abonaabona. Ensonga enkulu lwaki Yakuwa yali ayogera ne Yobu tekwali kulaga Yobu nsonga lwaki yali abonaabona, nga gy’obeera Katonda kyali kimwetaagisa okwewozaako. Mu kifo ky’ekyo, Yakuwa yali ayagala okuyamba Yobu okukiraba nti yali wa wansi nnyo ku ye. Ate era Yakuwa yayamba Yobu okukiraba nti waaliwo ensonga enkulu ennyo n’okusinga okubonaabona kwa Yobu ezaali zizingirwamu. (Soma Yobu 38:18-21.) Ekyo kyayamba Yobu okutereeza endowooza ye.

12 Yakuwa okwogera bw’atyo ne Yobu ate nga Yobu yali ayise mu bizibu bingi, kiraga nti Yakuwa teyali wa kisa? Nedda. Mu butuufu ne Yobu teyakitwala bw’atyo. Wadde nga yali ayise mu kubonaabona kungi, Yobu yakiraga nti yasiima okubuulirira Yakuwa kwe yamuwa. Yobu yagamba nti: “Mmenyawo bye nnayogera, era nneenenya mu nfuufu n’evvu.” Okubuulirira Yakuwa kwe yamuwa kwavaamu ebirungi. (Yob. 42:1-6) Ate era nga Yakuwa tannawabula Yobu, omuvubuka ayitibwa Eriku yasooka n’abuulirira Yobu. (Yob. 32:5-10) Yobu bwe yakkiriza okubuulirira okwava eri Yakuwa era n’atereeza endowooza ye, Yakuwa yategeeza abalala nti yali asiimye Yobu olw’okuba omwesigwa gy’ali.Yob. 42:7, 8.

13. Okubuulirira Yakuwa kwe yawa kwayamba kutya Yobu n’oluvannyuma lwa Yobu okuyita mu kugezesebwa?

13 Okubuulirira Yakuwa kwe yawa Yobu kwamuganyula n’oluvannyuma lw’okuyita mu kugezesebwa okwo. Mu ngeri ki? Wadde nga “Yakuwa yawa Yobu omukisa mu kiseera ky’obulamu bwe ekyasembayo okusinga ekyasooka,” kiteekwa okuba nga kyatwalira Yobu ebbanga okutereerera ddala. Oluvannyuma lw’emyaka, Yobu “yafuna abaana ab’obulenzi abalala musanvu n’ab’obuwala basatu.” (Yob. 42:12-14) Kya lwatu nti oluusi Yobu yalowoozanga ku baana be Sitaani be yatta. Ate era ateekwa okuba ng’oluusi yajjukiranga obulumi bwe yayitamu. Ne bwe kiba nti oluvannyuma yategeera bulungi ensonga lwaki yafuna ebizibu ebyo, oluusi n’oluusi ayinza okuba nga yeebuuzanga ensonga lwaki Katonda yamuleka okubonaabona ennyo bw’atyo. Ka bibe birowoozo ki ebyamujjiranga, ateekwa okuba nga yalowoozanga ku kubuulirira Katonda kwe yamuwa. Ekyo kiteekwa okuba nga kyamuyamba okusigala ng’alina endowooza ennuŋŋamu era kiteekwa okuba nga kyamubudaabuda nnyo.Zab. 94:19.

Tuneewala okumalira ebirowoozo byaffe ku bizibu bye tufuna ne tubissa ku nsonga esinga obukulu? (Laba akatundu 14)

14. Ebyo bye tusoma ku Yobu bituyigiriza ki?

14 Ebyo bye tusoma ku Yobu bisobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu n’okubudaabudibwa. Ekyo kiri kityo kubanga Yakuwa yawandiisa ebintu ebyo “okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.” (Bar. 15:4) Biki bye tuyigira ku Yobu? Ekisooka, tetusaanidde kumalira birowoozo byaffe ku bizibu bye tufuna ne tutuuka n’okwerabira ensonga esinga obukulu ekwata ku kulaga nti Yakuwa y’agwanidde okufuga. Era okufaananako Yobu, tulaga nti tuwagira obufuzi bwa Yakuwa nga tusigala nga tuli beesigwa gy’ali ne mu mbeera enzibu ennyo.

15. Bwe tusigala nga tuli beesigwa nga tugezesebwa birungi ki ebivaamu?

15 Ebyo bye tusoma ku Yobu bituzzaamu amaanyi kubanga biraga nti bwe tufuna ebizibu kiba tekitegeeza nti Yakuwa atunyiigidde. Ebizibu bye tufuna bituwa akakisa okukiraga nti tuwagira obufuzi bwa Yakuwa. (Nge. 27:11) Bwe tugumiikiriza nga tubonaabona, tusanyusa Yakuwa era tunyweza essuubi lyaffe. (Soma Abaruumi 5:3-5.) Ebyo bye tusoma ku Yobu biraga nti “Yakuwa alina okwagala kungi era musaasizi.” (Yak. 5:11) Bwe tuwagira obufuzi bwa Yakuwa ajja kutuwa emikisa. Ekyo bwe tukimanya kituyamba “okugumira byonna n’okugumiikiriza n’essanyu.”Bak. 1:11.

OKUKUUMIRA EBIROWOOZO BYAFFE KU NSONGA ENKULU

16. Lwaki bulijjo tusaanidde okujjukira ensonga lwaki kikulu okuwagira obufuzi bwa Yakuwa?

16 Kyo kituufu nti oluusi tekiba kyangu kukuumira birowoozo byaffe ku nsonga enkulu ekwata ku bufuzi bwa Yakuwa. Oluusi tuyinza okuwulira ng’ebizibu bitusukkiriddeko. N’ebizibu ebitali bya maanyi biyinza okulabika ng’eby’amaanyi ennyo singa tubimalirako ebirowoozo byaffe. N’olwekyo, ka tube nga twolekagana na kizibu ki, bulijjo tusaanidde okukijjukiranga nti kikulu nnyo okuwagira obufuzi bwa Yakuwa.

17. Obutaddirira mu mulimu gw’okubuulira kiyinza kitya okutuyamba okukuumira ebirowoozo byaffe ku nsonga enkulu?

17 Okweyongera okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira kituyamba okukuumira ebirowoozo byaffe ku nsonga enkulu. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe ayitibwa Renee yalwala obulwadde bwa kkookolo n’obw’okusannyalala era yalina obulumi obutasalako. Bwe yali ajjanjabwa mu ddwaliro, yabuulira abasawo, abalwadde, n’abo abaamukyaliranga. Lumu yabuulira essaawa 80 mu wiiki bbiri n’ekitundu zokka. Ne bwe yali anaatera okufa, Renee teyeerabira nsonga nkulu ekwata ku bufuzi bwa Yakuwa. Ekyo kyamuyamba obutamalira birowoozo ku bulumi bwe yali ayitamu.

18. Ekyokulabirako kya Jennifer kiraga kitya obukulu bw’okukuumira ebirowoozo ku bufuzi bwa Yakuwa?

18 Ate era tusobola okukiraga nti tuwagira obufuzi bwa Yakuwa ne mu mbeera endala ze twolekagana nazo buli lunaku. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe Jennifer yamala ennaku ssatu ku kisaawe ky’ennyonnyi ng’alinda ennyonyi emutwala ewaabwe. Emirundi egiwerako ennyonyi gye yalina okulinnya, olugendo lwayo lwasazibwangamu. Olw’okuba Jennifer yali akooye, yali asobola okudda awo ne yennyamira. Naye mu kifo ky’ekyo, yasaba Yakuwa amuyambe okulaba engeri gye yali asobola okuyambamu abantu abalala abaali mu mbeera efaananako ng’eyiye. Biki ebyavaamu? Yabuulira abantu bangi era yagaba ebitabo bingi. Agamba nti, “Wadde nga nnayita mu mbeera eyo enzibu, nnakiraba nti Yakuwa yampa emikisa era yannyamba okuweesa erinnya lye ekitiibwa.” Jennifer ebirowoozo bye yabikuumira ku nsonga enkulu.

19. Abaweereza ba Yakuwa batwala batya obufuzi bwe?

19 Abantu ba Yakuwa be bokka abategeera ensonga lwaki kikulu okuwagira obufuzi bwa Yakuwa. Ekyo kibaawulawo ng’abaweereza ba Katonda ab’amazima. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okweyongera okuwagira obufuzi bwa Yakuwa.

20. Yakuwa awulira atya bw’akulaba ng’ofuba okuwagira obufuzi bwe?

20 Bw’ofuba okuwagira obufuzi bwa Yakuwa ng’omuweereza n’obwesigwa era ng’ogumira ebizibu, Yakuwa akiraba era kimusanyusa nnyo. (Zab. 18:25) Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ensonga endala lwaki tusaanidde okuwagira obufuzi bwa Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna era n’engeri gye tuyinza okubuwagiramu.